رسالة في الدماء الطبيعية للنساء (لوغندي)

كتاب رِسَالَةٍ فِي الدِّمَاءِ الطَّبِيعِيَّةِ لِلنِّسَاءِ للشيخ العلامة محمد بن صالح العثيمين رحمه الله هو رسالة علمية رصينة تناولت بالبحث والتحقيق دماء النساء الطبيعية من الحيض والاستحاضة والنفاس، مستندةً إلى الكتاب العزيز والسنة المطهرة، مقرونةً بفهم دقيق لأقوال أهل العلم في هذه المسائل. وضعت فيها أحكام الدماء، مبينةً الفروق الدقيقة بين الحالات، ومقدمةً دليلاً شرعيًا لتحقيق الهداية والطمأنينة للمسلمة في فهم دينها.

  • earth Olulimi
    (لوغندي)
  • earth kyawandiikibwa:
    الشيخ محمد بن صالح العثيمين
PHPWord

 

 

رِسَالَةٌ فِي الدِّمَاءِ الطَّبِيعِيَّةِ لِلنِّسَاءِ

 

OBUBAKA KU MISAAYI GY'EKIKYAALA EGY'OBUTONDE

 

 

بِقَلَمِ فَضِيلَةِ الشَّيْخِ العَلَّامَةِ

مُحَمَّدِ بْنِ صَالِحٍ العُثَيْمِينِ

غَفَرَ اللَّهُ لَهُ وَلِوَالِدَيْهِ وَلِلمُسْلِمِينَ

 

kyawaandiikibwa ow'ekitiibwa shiekh omumanyi

Muhammad bun Swaleh Al-uthaymiin

Allah amusonyiwe ne bazadde be n'abasiraamu bonna

 


بِسْمِ اللهِ الرَّحمَنِ الرَّحِيمِ

OBUBAKA KU MISAAYI GY'EKIKYAALA EGY'OBUTONDE

 

Mu linnya lya Allah Omusaasizi ennyo Ow'ekisa ekingi

Amatendo (amalungi amajjuvu) ga Allah, tumutendereza era netumusaba obuyambi era tumusaba okutusonyiwa, era gwetwenenyeza, era twewogoma gy'ali okuwona obubi bw'emyoyo gyaffe, n'emirimu gyaffe emibi. oyo yenna Allah gwaba aluŋŋamizza teri ayinza kumubuza, ate negwaba abuzizza teri ayinza kumuluŋŋamya, era nkakasa nti mazima tewali asinzibwa mubutuufu okuggyako Allah yekka, talina kimwegattako kyonna, era nkakasa nti mazima Muhammadi muddu we era mubaka we, Allah amusseeko okusaasira kwe, n’abantu be, ne ba ‘swahaaba’ be, na yenna abagoberera mu bulungi okutuusa ku lunaku lw'okusasulagana (olw'enkomerero); n'emirembe egyannamaddala.

Oluvannyuma lw'ebyo: emisaayi ejiva mu mukyala nga nagyo ye haidhwi [Omwezi] ne istihaadha [ekikulukuto] ne nnifaasi [omusaayi gw'okuzaala], zimu kunsonga enkulu ezeetagisa okunnyonyola n'okumanya amateeka g'agyo, n'okwawula ekituufu ku kikyaamu mu bigaambo by'abanannyini kumanya kuggyo, Era kubeere okwesigama mu kulondako ekisiinga obutuufu mu byo, oba ekinafu nga kisinziira ku ebyo ebyajja mu kitabo (Quran) n'enkola y'omubaka (hadiith).

1- kubanga byo byombiriri y'ensibuko era gwe musingi amateeka ga Allah owawaggulu kwegazimbibwa ago geyalagira abaddu be bamusinze nago era geyabalaalikako.

2- Era mu kwesigama ku kitabo (Quran) n'enkola y'omubaka (hadiith) mulimu obutebenkevu bw'omutima, n'okwanjulukuka kw'ekifuba, n'okusiima kw'omwoyo, n'omuntu okwejjeerera.

3- N'olwokuba nti ekitali byombiriri (Qur'an ne sunnah / hadiith), binonyezebwa bujulizi naye ate tetubifuula bujulizi.1

kuba teri bujulizi (bwetujuliza) okujjako ebigambo bya Allah owawaggulu (Qur'an) n'ebigambo by'omubaka we (hadiith) okusaasira n'emirembe bibeere ku yye, nabwekityo ebigambo by'abanannyini kumanya muba swahaaba, okusiinziira ku kigambo ekisiinga okuba ekituufu, kasita biba nga tebyawukanye nabiri mukitabo Qur'an wadde hadiith. era nga tekyawukanye nakigambo kya swahaaba mulala. singa kyawukana n'ekyo ekiri mu kitabo Qur'an oba sunna kiba kikakata okwekwata ku kiri mu Quran ne sunna (hadiith), ate singa kyawukana n'ekigambo kya swahaaba omulala, ageraageranya wakati w'ebigambo ebibiri (mu kunoonyako ekisinga obutuufu) era n'atwalako ekisiinga obutuufu;

﴿...فَإِن تَنَٰزَعۡتُمۡ فِي شَيۡءٖ فَرُدُّوهُ إِلَى ٱللَّهِ وَٱلرَّسُولِ إِن كُنتُمۡ تُؤۡمِنُونَ بِٱللَّهِ وَٱلۡيَوۡمِ ٱلۡأٓخِرِۚ ذَٰلِكَ خَيۡرٞ وَأَحۡسَنُ تَأۡوِيلًا﴾

Olw'ekigambo kya Allah owawaggulu: {Bwe mufuna obutakkaanya ku nsonga yonna mugizze eri Katonda (Qur'an) n’omubaka (hadiith), bwe muba (nga ddala) mukkiriza Katonda n'olunaku lw’enkomerero ekyo ky'ekirungi era kyekivaamu ebibala ebirungi.} [Al-nisaa:59].

era buno bubaka obufunze nga bulimu ebyetaagisa ennyo okunnyonyolwa ku misaayi egyo n'amateeka g'agyo, era nga bwetoloolera ku mitwe gino wammanga:

Omutwe ogusooka: amakulu ga Al-haidhwi (okugenda mu nsonga) n'ekigendererwa mu yyo.

Omutwe ogw'okubiri: ekiseera kya haidhwi n'ebbanga lya yo.

Omutwe ogwokusatu: ebigwa bitalaze mu haidhwi (okugenda mu nsonga).

Omutwe ogwokuna: amateeka ga haidhwi (okugenda mu nsonga).

Omutwe ogwokutaano: ekikulukuto n'amateeka gakyo.

Omutwe ogwomukaaga: omusaayi gw'ekizadde (ogufuluma oluvannyuma lw'okuzaala) n'amateeka gaagwo.

Omutwe ogwomusaanvu: okukozesa ebiziyiza haidhwi oba ebigireeta, n'ebiziyiza okufuna olubuto oba ebirujjamu.

Omutwe ogusooka: Amakulu ga haidhwi (okugenda mu nsonga) n'ekigendererwa mu kyo

Al-haidhi mu lulimi oluwalabu: kwe okukulukuta kw'ekintu n'okutambula kwa kyo.

Ate mu mateeka (g'obusiraamu): Gwe musaayi ogw'obutonde oguva mu bakyala nga tewali nsonga mu biseera ebimanyikiddwa. Era musaayi gw'abutonde [ogufuluma] awatali bulwadde oba kiwundu oba kuvaamu lubuto oba kuzaala. N'olwensonga nti musaayi gwa butonde, guba gw'awukana okusiinzira kumbeera y'omukyala, newawangaalira n'ebimwetoolodde; kyekyo lwaki abakyala bawukana mugwo olwawukana olunene olw'eyolefu.

Ate ekigendererwa mu gwo: nti nga bwekiri nti omwana bwabeera mulubuto lwa maama we aba tasobola kulya ebyo ebiriibwa oyo ali wabweeru w'olubuto, era nga omuntu asinga okumusaasira aba tasobola kumutuusako kantu konna kakulya, awo Allah owa waggulu yateeka mu mukyala omusaayi omukenenule ogukola nga ekiriisa ky'omwana oyo nga ali mu lubuto lwa maama we nga tafunye bwetaavu bwakulya wadde (okugaaya) okugonza [byaba alidde], nga gutuuka mu mubiri gw'omwana nga guyita mu kkundi bwegumala okuyita mu misuwa ne gufuulibwa ekiriisa (gyali), yayawukana Allah Omutonzi Asinga.

ekyo nno ky'ekigendererwa mu "haidhwi"; era y'ensonga lwaki omukyala bwafuna olubuto "haidhwi" erekeraawo okujja, n'aba nga tagenda munsonga okujjako mu mbeera etasangika, nabwekityo era abakyala abayonsa batono abagenda munsonga naddala ku ntadikwa y'okuyonsa.

Omutwe ogw'okubiri: Ekiseera kya haidhwi n'ebbanga lya yo.

Okwogera ku mutwe guno kulimu obunyomero bubiri (oba engeri bbiri):

Akanyomero akasooka: emyaka haidhwi kwejjira.

Akanyomero akookubiri: ebbanga lya haidhwi (ly'emala).

Kko akanyomero akasooka: emyaka haidhwi kw'etera okujjira, giba wakati wa myaka kkumi n'ebiri okutuuka ku myaka amakumi ataano, Oluusi omukyala asobola okugenda mu haidhwi nga tannaweza myaka egyo oba nga agiyisizzaamu okusinziira kukikula kye ne mbeera ne wawangaalira.

era abamanyi Allah abasaasire baayawukana nti: abange haidhwi erina emyaka egyeyawulidde, nga omukyala tagenda mu nsonga nga tannagiweza, oba nga agisussizza, era nga bwegujja olubereberye oba oluvannyuma lw'emyaka egyo guba musaayi omufu (olw'obulwadde) so ssi haidhi?

abamanyi bayawukana mw'ekyo; Al-daarimi ; yagamba - oluvannyuma lw'okuleeta enjawukana-: ebyo byonna bikyaamu gyendi! kubanga kyetweseembesa mw'ebyo byonna kidda eri ku kubaawo (kwa gwo), ekigero kyonna ekiba kiriwo mu mbera yonna ne myaka jonna aba haidhwi, Allah yasiinga okumanya.

n'ekyo Al-daramii kyeyagamba kyekituufu, era ne sheikh al- islam ibn tayimiyya kyeyalondako, ekiseera kyonna omukyala walabira omusaayi gwa haidhwi, aba agenze mu nsonga, nebwaba nga tannaweza myaka mwenda oba nga asussizza emyaka ataano, ekyo kiri bwekityo kubanga amateeka ga haidhwi Allah oluvannyuma n'omubaka we yagateekawo nga asinziira kukujja kwagwo, era Allah n'omubaka we tebateekawo myaka gyeyawulidde, nekiba nti tuyina kutunuulira kujja kwagwo kuba amateeka kwegaayimirira, era n'okussa ekikomo mu myaka kyetagisa bujulizi okuva mu kitabo Quran oba sunna, ate nga tewali bujulizi kwekyo.

akanyomero akookubiri era nga ly'ebbanga lya haidhwi, oba; ennaku za haidhwi.

abamanyi bayawukana ku zzo olwawukana olunene, mu bigambo nga mukaaga oba musaanvu. yagamba ibnu Al-munzir Allah amusiime: era nekigamba ekibiinja: nti ebbanga lya haidhwi ettono oba eddene teririiko nnaku ngereke.

nengamba: nti ekigambo ekyo kifaanana n'ekya Al-darimi ekikulembedde era ne shiekh al-islam ibn tayimiyya kyeyalondako, era nga kyekisinga obutuufu; kubanga kiriko obujulizi okuva mu kitabo Quran ne sunna n'okugerageranya.

obujulizi obusooka:

﴿وَيَسۡـَٔلُونَكَ عَنِ ٱلۡمَحِيضِۖ قُلۡ هُوَ أَذٗى فَٱعۡتَزِلُواْ ٱلنِّسَآءَ فِي ٱلۡمَحِيضِ وَلَا تَقۡرَبُوهُنَّ حَتَّىٰ يَطۡهُرۡنَۖ...﴾

ekigambo kya Allah omusukkulumu: { Era bakubuuza (Ggwe Muhammadi) ku mukyala nga ali mu nnaku zaabwe (nga bali mu nsonga) Bagambe nti: Gwo (omusaayi), kyenyinyalwa kale nno mwesambe abakyala nga bali mu nsonga (haidhwi), era temubasembereranga ( mu nsonga z'ekifumbo) okutuusa lwe batukula} [Al- baqara:222], Allah nateekawo okuziyiza mpaka nga omukyala atukudde, era natakuteeka kukuyitawo kwa lunaku oba nnaku ssatu oba ennaku kkumi nattaano, nekitegeeza ekyo nti ensonga eyimirirako okulamula, kwe kubaawo kwa haidhwi oba obutabaawo, akaseera haidhwi webeererawo amateeka ( ga haidhwi) gakakata, ate omukyala bwatukula amateeka gavaawo.

obujulizi obw'okubiri:

مَا ثَبَتَ فِي صَحِيحِ مُسْلِمٍ أَنَّ النَّبِيَّ صَلَّى اللَّهُ عَلَيْهِ وَسَلَّمَ قَالَ لِعَائِشَةَ وَقَدْ حَاضَتْ وَهِيَ مُحْرِمَةٌ بِالْعُمْرَةِ: «افْعَلِي مَا يَفْعَلُ الْحَاجُّ، غَيْرَ أَنْ لَا تَطُوفِي بِالْبَيْتِ حَتَّى تَطْهُرِي». قَالَتْ: فَلَمَّا كَانَ يَوْمُ النَّحْرِ طَهُرْتُ. الْحَدِيثُ.

Obwajja nga butuufu mu Sahiihi muslim mazima Nabbi -okusaasira n'emirembe bibeere ku yye yagamba Aisha bweyagenda mu haidhwi nga ali mu umrah, nti: «kola buli kyonna haaji kyakola okujjako okwetoloola ennyumba(kaaba) mpaka nga omaze okutukula», yagamba (Aisha): bwelwatuuka olunaku lw'okusala(olwekkumi) nentukula. hadith.

era mu bitabo ebituufu ebibiri (sahiih bukhari ne sahiih muslim) mazima Nabbi -okusaasira n'emirembe bibeere ku yye- yamugamba: « lindako, bwonaatukula nga ogenda ettaniim», nafuula Nabbi -okusaasira n'emirembe bibeere ku yye okuziyiza nga kukoma nga omukyala atukudde, natafuula kuziyiza nga asinziira ku bbanga eryeyawulidde, ekyo nekiraga nti okulamula kubaawo nakubaawo kwa haidhwi na butabaawo.

obujulizi obw'okusatu: nti okugeraageranya okwo n'okulambulula kwebayogera abamu ku banna fiqhi ku nsonga eyo tekuli mu kitabo kya Allah omusukkulumu wadde mu hadiith z'omubaka okusaasira n'emirembe bibeere ku yye, newankubadde nga obwetaavu bwamanyi okuzinyonnyola, singa kyali mu byetteeka ku baddu okukimanya n'okusiinza nakyo Allah, yandi kinyonnyodde yye Allah n'omubaka we okusaasira n'emirembe bibeere ku yye olunyonnyola olweyolefu eri buli muntu; kulwobukulu bw'amateeka agagoberera ekyo, omuli eswala n'okusiiba n'okwegatta ( mu nsonga z'ekifumbo) n'okutalaka n'okusika n'ebirala mumateeka, nga bweyanyonnyola Allah n'omubaka we omuweendo gw'eswala n'ebiseera byazo n'enkutama zaazo n'envunnama zaazo, ne zzaka: ebyobugagga mwetoolebwa n'ekigero kyayo n'abagifuna, n'okusiiba: ebbanga lyakwo n'ekiseera kyakwo, ne hijja nebiri wansi weebyo, okutuusa ne kumpisa z'okulya n'okunwa n'okwebaka n'okwegatta n'okutuula n'okuyingira munnyumba n'okugifuluma, nempisa z'okumala ekyetaago, kagibe mirundi gy'okwesimuula nga omaze ekyetaago n'ebirala ebitali ebyo mu nsoonga entono n'ennene, mw'ebyo Allah byeyajjuza nabyo eddiini, era najjuza nabyo ekyengera ku bakkiriza,

nga bweyagamba Allah:

﴿...وَنَزَّلۡنَا عَلَيۡكَ ٱلۡكِتَٰبَ تِبۡيَٰنٗا لِّكُلِّ شَيۡءٖ...

{Era twakuweereza ekitabo nga kinnyonnyola ebintu byonna } Al-nahl:89].

﴿...مَا كَانَ حَدِيثًا يُفْتَرَى وَلَـكِن تَصْدِيقَ الَّذِي بَيْنَ يَدَيْهِ وَتَفْصِيلَ كُلَّ شَيْءٍ...

{(Qur’an) Tebibangako bigambo bijweteke, naye byagya okukakasa ebiri mu maaso gayo (Quran) mu bitabo ebyasooka n'okunnyonyola buli kintu.}

[yusuf:111].

bwekiba nga okugerageranya n'okunyonnyola okwo tekuli mu kitabo kya Allah wadde mu hadiithi z'omubaka kyeyoleka obutakwesembesa, wabula ekiyina okwesembesebwa ye haidhwi mu kubaawo kwayo oba obutabaawo, ku yyo amateeka kwegazimbibwa, obujulizi obwo- ntegeeza: nti Quran ne hadiithi obutaleeta kulamula [kunsonga], buba bujulizi [obulaga] obuteseembesa- kikugasa ku nsonga eno oba ensonga endala yonna mu nsonga z'okumanya: kubanga amateeka g'obusiraamu tegakakata okuleka nabujulizi okuva mu Quran, oba sunna z'omubaka we okusaasira n'emirembe bibeere ku yye, oba okwegatta kw'abamanyi okumanyikiddwa, oba okugerageranya okutuufu. yagamba sheikh Al-islam ibn tayimiyya mu tteeka lye: « nemwebyo mulimu haidhwi Allah yamuteekako amateeka ageenjawulo mu Quran ne sunna, natateekawo kigero kitono oba kinene, wadde okutukula wakati wa haidhwi ebbiri n'okuba nti nsonga ebuna abasiraamu bonna era beetaavu gy'eri, era n'olulimi terwawula wakati wakigero nakirala, oyo agereka nateekawo ekkomo aba ayawukanye ku Quran ne sunna» bikoma wano ebigambo bye.

obujulizi obwokuna: okugerageranya, oba okukwanaganya okubuna, lwansonga nti Allah omusukkulumu yateenda haidhwi okuba nti kyenyinyalwa, wonna haidhwi wasangibwa ekyenyinyalwa kibaawo, awatali njawulo wakati wa lunaku lwakubiri na lunaku olusooka, wadde olwokuna oba olwokusatu, era tewali njawulo wakati wa lunaku lwakkumi na mukaaga n'olwekkumi nettaano, wadde olw'ekkumi n'omunaana n'olwekkumi n'omusaanvu, haidhwi ye haidhwi n'ekyenyinyalwa kiba kyenyinyalwa, ekiteendo [bwekiba] wekiri mu nnaku bbiri mu bwennyini bwakyo, butya bwekiba ekituufu okwawula munnamula wakati w'ennaku ebbiri nga ate ekiteendo kyekimu tekikyuuse? okwo tekuba kwawukana ku kugerageranya okutuufu? nga ate okugerageranya okutuufu kwenkanyankanya ennaku ebbiri mukulamula kubanga ekiteendo kyekimu?.

Obujulizi obwokutaano: kw'ekukontana kw'ebigambo by'abateekawo ebbanga eggere n'okukubagana kwabyo, ekyo kiraga nti tewali bujulizi kunsonga eno obwetteeka okugobererwa, wabula namula eziva mu kunyiikira kw'abamanyi okusobola okuba okutuufu oba okukyaamu, nga tewali kusiinga kukulala, era obuddo mu mbeera y'okwawukana kuyina kuba eri Quran ne sunna.

Bwegeeyoleka amaanyi g'ekigambo: nti tewali kkomo ku bbanga lya haidhwi mu butono oba obungi. era nga ky'ekigambo ekisiinga obutuufu, manya nti buli mukyala bwalaba omusaayi nga tegulina nsoonga kibeere ekiwuundu n'ebiriinga ebyo, guba musaayi gwa haidhwi nga tewali kugereka bbanga oba myaka okuleka nga gugenderera ku mukyala nga tegukoma oba nga gukutukawo akaseera katono nga olunaku oba ennaku bbiri mu mweezi, olwo neguba nga kikulukuto, nga bwebinajjya mumaaso- Allah nga ayagadde- okunyonnyola ekikulukuto n'amateeka gakyo.

yagamba sheikh Al-islam ibn tayimiyya: ekikolo kubuli kintu ekifuluma mu nnabaana eba haidhwi okutuusa nga wafunyisewo ekilaga nti kikulukuto. era nagamba: ekiba kifulumye mu musaayi eba haidhwi ebbanga lyekimala nga tekimanyiddwa nti musaayi gwa kiwundu oba guva mu misuwa. Era ekigambo ekyo bwekiri nti kyekisinga obutuufu okusinziira kubujulizi ate era kyekiri okumpi n'okutegeera n'okufumiitiriza, era ekisiinga obwangu okukolerako n'okuteeka munkola okusinga ku kyebaayogera abateekawo ekkomo, ekibeera bwekityo kyekiba kisiinga [obulungi] okutwalibwa kubanga kikwatagana n'omyoyo gw'eddini y'obusiraamu, nga yennyangu era ngonvu,

yagamba Allah omusukkulumu:

﴿...وَمَا جَعَلَ عَلَيۡكُمۡ فِي ٱلدِّينِ مِنۡ حَرَجٖ...

{era teyabateekera mu ddiini buzito bwonna}

[Al-hajj 78].

«إِنَّ الدِّينَ يُسْرٌ وَلَنْ يُشَادَّ الدِّينَ أَحَدٌ إِلَّا غَلَبَهُ فَسَدِّدُوا وَقَارِبُوا وَأَبْشِرُوا».

Era yagamba nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye: « eddini eno nyangu, era oyo yenna eyekaluubiriza eddini emuwangula, mubeere wakatikkati, mukole ekisoboka era mube nessanyu». yayogerwa bukhari.

Era yali mpisa ye (nabbi) okusaasira n'emirembe bibeere ku yye« nti teyaweebwa nga kulonda wakati w'ensonga bbiri okuleka nga yalondangako esiinga obwangu kasita tebamu kwonoona».

Haidhwi w'omukyala ali olubuto:

Ebiseera ebisiinga obungi omukyala bwafuna olubuto omusaayi gukutukawo, yagamba imaam Ahmad Allah amusiime: « abakyala bamanya nti bafunye embuto nakukutukawo kwa musaayi», omukyala ali olubuto bwalaba omusaayi nga wabula akaseera katono azaale [nga ennaku bbiri oba ssatu] nga afunye ebisa oyo aba nifaasi[omusaayi gw'ekizadde], Ate bwegujja nga wabula ebbanga ddene azaale oba nga wabula akaseera katono azaale naye nga tayina bisa oyo taba nifasi, naye ate abange aba haidhwi nti amateeka ga haidhwi gakakata oba guba musaayi omwononefu nga tegulamulwa nannamula ya haidhwi?

ku kino waliwo okwawukana wakati w'abamanyi, nga n'ekisinga obutuufu kiri nti aba haidhwi, singa alabira mu nnaku ze eza bulijjo ezimanyikiddwa; kubanga ekikolo ku musayi omukyala gw'afuna aba haidhwi, singa tewabaawo nsonga emugaana okubeera haidhwi, nga ate tewali mu Quran wadde sunna nti omukyala owolubuto tagenda mu haidhwi.

Era ekyo ekigambo kya amazihibu ga imaam maliki ne shafi`e, era ky'ekigambo kya sheikh Al-islam ibn tayimiyya; yagamba mukitabo ekiyitibwa AL-ikhtiyaraat(p:30) era yakyogera Al-bayhaqiyyu nga akijja ku Ahmad, era nagamba nti kyeyatwala. biweddeyo.

Nabwekityo kikakata ku mukyala owa haidhwi nga ali lubuto ekyo ekikakata kw'oyo atali lubuto okujjako mu nsonga bbiri:

Ensonga esooka: talaka, kizira okuwa omukyala ali mu haidhwi talaka, naye ate tekizira kw'oyo ali olubuto [ne bwaba mu haidhwi]; kubanga talaka y'omukyala ali mu haidhwi nga tali lubuto ekontana n'ekigambo kya Allah omusukkulumu:

﴿...فَطَلِّقُوهُنَّ لِعِدَّتِهِنَّ...

{mubaterenga mu butukuvu bwabwe} [Al-talaq:1] Naye ate okuta omukyala owolubuto nga ali mu nsoonga tekikontana nayo; kubanga oyo aba atadde omukyala owolubuto aba amutadde mu idda ye, kabeere nga ali mu haidhwi oba nga mutukuvu; kubanga idda ye lwe lubuto [eggwako nga azadde]; Nabwekityo tekizira ku yye okumuwa talaka nga amaze okwegatta naye okwawukanako n'abasigadde.

Ensonga eyokubiri: nti omukyala ali olubuto idda ye teggwaako na haidhwi, okwawukanako n'abasigadde; kubanga idda y'owolubuto teggwaako okutuusa nga azadde, kaabe nga asigadde agenda mu haidhwi oba nedda;

kulwekigambo kya Allah omusukkulumu:

﴿...وَأُوْلَاتُ الأَحْمَالِ أَجَلُهُنَّ أَن يَضَعْنَ حَمْلَهُنَّ...

{Ate ab’embuto ekiseera kyabwe kiggwaako nga bazadde ebiri mu mbuto zaabwe} [Al-talak:4].

Ennyingo eyokusatu: ebigwa bitalaze mu haidhwi

Ebigwa bitalaze mu haidhwi birirmu emiteeko:

Omuteeko ogusooka: okweyongera oba okukendeera, eky'okulabirako nga okubeera nga omukyala agendamu ennaku mukaaga, nezeeyongeramu mpaka olwomusaanvu, oba okuba nga embeera ye ya nnaku musaanvu naye ate natukula ku lwomukaaga.

Omuteeko ogw'okubiri: okukulembera oba okukeerewa, eky'okulabirako nga okuba nti mbeera yamukyala okugenda munsonga ku nkomerero y'omwezi naye ate nalaba haidhwi kuntandikwa yagwo, oba okuba nga embeera ye agendamu ku ntandikwa y'omwezi naye ate nagulaba ku nkomerero yagwo.

Bayawuka bannanyini kumanya ku nnamula y'emiteeko egyo gyombi, nga ekisinga obutuufu kiri nti wonna walabira omusaayi eba haidhwi, ate wonna waatukulira aba atukudde, kaabe nga ennaku ze zeyongeddemu oba nga zikendedde, oba nga zikereyeemu oba nga zikulembeddemu, era obujulizi bwayogeddwa mu kanyomero akakulembedde, mu mbeera nti Allah yateekawo amateeka ga haidhwi mu kaseera nga weguli.

Era ago ge mazihibu ga imaam Al-shafie, era ky'ekigambo kya sheikh Al-islam ibn tayimiyya, era eyawandiika ekitabo kya almughni yaleeta obujulizi obukiwa amaanyi era obukitaasa era nagamba nti: singa embeera y'omukyala kwalwarira nga kwetusinziira, nga bwekyayogeddwa mu mazihibu[ ga imaam ahmad] nabbi yandi kinyonnyodde ekibiina kye era teyandi kereye ku kinyonnyola; Kubanga tekikkirizibwa kukeereya kunnyonnyola okusukka ekiseera kyakwo, nga bakyaala be n'abasigadde mu bakyala betaavu okunnyonnyolwa ekyo ekiseera kyonna, nga tasobola kuba mugayaavu kwekyo, Era nga nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye teyayogera ku mbeera wadde okuginnyonnyola okuggyako kw'oyo ow'ekikulukuto yekka. biweddeyo.

Omuteeko ogw'okusatu: sufra [amazzi aga kyenvu] oba kudra [amazzi agali wakati wa kyenvu n'obuddugavu], mu mbeera nti omukyalaa alaba omusaayi nga gulinga amasira [aga kyenvu] oba nga guli wakati wakyenvu n'obuddugavu, ekyo singa kibaddewo nga ali mu haidhwi oba nga anaatera okutukula oyo aba haidhwi era tuteeka amateeka ga haidhwi mu nkola, naye ate bwekibeerawo oluvannyuma lw'okutukula taba haidhwi;

لِقَوْلِ أُمِّ عَطِيَّةَ رَضِيَ اللَّهُ عَنْهَا: «كُنَّا لَا نَعُدُّ الصُّفْرَةَ وَالْكُدْرَةَ بَعْدَ الطُّهْرِ شَيْئًا». رَوَاهُ أَبُو دَاوُدَ بِسَنَدٍ صَحِيحٍ.

Kulw'ekigambo kya ummu atwiyya Allah amusiime: «twali nga tetubala mazzi ag'akyenvu oba ag'akitaka agajja oluvannyuma lw'okutukula nga kintu kyonna'' yayogerwa Abu Dauda era sanadi ya hadiithi ntuufu,2 Era yagyogera Al-bukhaari nga temuli kigambo : (oluvannyuma lw'okutukula), wabula yagiwa omutwe ogugamba nti: Omulyango gwa Alsufra ne Alkudra mu nnaku ezitali za haidhwi. Era nagamba nga anyonnyola mu kitabo ekituufu ekya Al-bukhaari: « asonga nekyo nga agatta wakati wa hadith ya Aisha ekulembedde weyagambira( Aisha) nti: okutuusa nga olabye amazzi ameeru. Ne wakati wa hadith ya ummu atwiyya eyaleeteddwa ku mulamwa, kulwensonga nti hadith ya Aisha - eyogera mu mbeera nga omukyala alabye amazzi agali wakati wa kyenvu ne kitaka mu nnaku za haidhwi, naye ate hadith ya ummu Atwiyya eyogera mu nnaku ezitali za haidhwi ». bikomye awo. Ne mu hadith ya Aisha, eyo gyeyasonzeeko, yeyo Al-bukari gyeyaleta nga agikakasa nga ekulembedde omulyango ogwo, nti abakyala baali nga bawereza Aisha Allah amusiime obuwero obwa kotoni nga bulimu sufra [amazzi agakyenviyirivu] nabagamba: «temwanguyiriza okutuusa nga mulabye amazzi ameeru ag'okutukula]». Ne qassatul al-baidhaa ge mazzi ameeru nabaana gefulumya nga haidhwi eweddeyo.

Omuteeko ogwokuna: okulaba haidhwi mu bitundutundu, ng'okulaba omusaayi leero, ate enkya natagulaba n'ebiringa ebyo, nakyo kirimu embeera bbiri:

Embeera esooka: okuba nga ekyo kiri ku mukyala ebiseera bye byonna, ogwo guba musaayi gwa kikulukuto oyo aba agulabye alamulwako nti wa kikulukuto.

Embeera eyokubiri: kwekubeera nga omukyala tegumubeerako lubeerera, wabula gujja ebiseera ebimu, era nga ayina ekiseera watukulira, abamanyi Allah abasaasire okutukula okwo bakwawukanamu. abange kuba kutukula oba amateeka ga haidhwi gamusigalako?

N'amadhihabu ga Imaam shafi-e mu kigambo kye ekisiinga obutuufu nti amateeka ga haidhwi gamusigalako, n'ebeera haidhwi, era ekyo sheikh Al-islam ibn taymiyya kyeyalondawo nannyini kitabo ekiyitibwa Al-fa-iqi, era ky'ekigambo kya mazihibu ga Abu Haniifa, Lwansonga nti amazzi ameeru tegalabika; era kubanga singa kuba kutukula ekikulembedde yandi badde haidhwi, n'oluvannyuma lw'okutukula ate naba haidhwi, ate nga tewali agamba ekyo, awatali ekyo idda yandiweddeko n'okutukula mu nnaku ttano; Era lwansonga nti singa lufuulibwa nti kutukula walibaddewo okukaluubirirwa n'obuzibu mu kunaaba n'ebirala mu buli nnaku bbiri, ate nga okukaluubirirwa tekuli mu sharia ya busiraamu, twebaza Allah.

Era ekisiinga okwatiikirira mu mazihibu ga ba Hanaabira: nti omusaayi guba haidhwi, n'obutabaawo bwa haidhwi kuba kutukula, okujjako nga [ennaku] zonna awamu nga zisussa ekigero ky'ebbanga lya haidhwi erisiinga obuwaanvu, neguba omusaayi ogususseemu nga kikulukuto.

Era yagamba omuwandiisi w'ekitabo Al-muguni: « singa omusaayi gulekelaawo okujja ebbanga erikka wansi w'olunaku, okwo tekuba kutukula, okusinziira ku kyetwagambye ku nifaasi( omusaayi gw'ekizadde) nti tetutunuulira kikka wansi wa lunaku era nga kye kituufu -insha-Allah- kubanga omusaayi gugya ate negusirikamu, ate nga mukufuula okunaaba nga tteeka buli kadde[bwegusirikamu] kirimu obukalubo;

Kulw'ekigambo kya Allah omusukkulumu:

﴿...وَمَا جَعَلَ عَلَيۡكُمۡ فِي ٱلدِّينِ مِنۡ حَرَجٖ...

{Era teyabateekera mu ddiini buzito bwonna} [Al-hajj 78], Yagamba: kulw'ekyo okukoma kw'omusayi tekubaawo nakikka wansi walunaku, okujjako nga waliwo akabonelo akalaga ekyo nga okubeera nga gukomye kunkomerero ya haidhwi oba nga alabye amazzi ameeru agooleka okutukula» biwedeyo.

Nekibeera nga ekigambo kya nannyina kitabo ekya Al-muguni nga kyekyawakati mubigambo ebibiri, Allah yasiinga okumanya ekitufu.

Omuteeko ogwokutaano: omusaayi omukalu nga omukyala alaba obutoberevu obutonotono, ekyo bwekibeerawo wakati nga ali mu haidhwi oba nga kigoberedde haidhwi nga tannatukula eyo eba haidhwi, ate singa kibaawo oluvannyuma lw'okutukula oyo taba haidhwi; kubanga embeera eyo tugifaananya ne ya amazzi agakyenvuyirivu n'agakitaka, era eyo yennamula ye.

Ennyingo eyokuna: Amateeka ga Haidhwi.

Haidhwi eyina amateeka mangi gasukka mu makumi abiri, katwogereko ago getusiinga okwetaaga, ne mu ggo mulimu:

Erisooka: Eswala: tekkirizibwa ku mukyala (ali mu nsonga) eswala eyetteeka oba ey'ekyeyagalire, era tetuuka ku yye [bwagisaala], nabwekityo eswala temukakatako okujjako nga asaanze ekigero ekisalirwaamu eraaka emu enzijuvu [mukaseera wawonedde], mukaseera ako eswala eba emukakatako kaabe nga agisaanze mukiseera ekisooka oba ekisembayo.

eky'okulabirako kye [kiseera] ekisooka: omukyala nagenda mu nsonga nga enjuba emaze okugwa nga wabula ekigero ky'eraaka emu [eswala ya magaribi eggweeko], kimukakatako bwaba atukudde okuliwa eswala ya magaribi kubanga yasanze ku kiseera kyayo ekigero ky'eraaka nga tannagenda mu nsonga.

Era eky'okulabirako kye [kiseera] ekisembayo: omukyala atukula okuva mu nsonga nga enjuba tennavvaayo ekigero nga wasigadde akaseera akasobola okusalibwamu eraaka emu, oyo kiba kimukakatako waba amaze okunaaba okuliwa eswala ya fajiri; kubanga aba asanze ku yo ekiseera ekisobola okusaalibwamu eraaka.

naye ate singa omukyala ali mu nsonga asanga ku kiseera ky'eswala akatundu akatasobola kusaalibwamu raaka nnamba, eky'okulabirako nga okugenda mu nsonga nga wabula butikitiki enjuba okugwa (ku magrib) oba okutukula nga wabula butikitiki enjuba okuvaayo (ku subhi), Awo eswala eba temukakatako: kulw'ekigambo kya Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye:

«مَنْ أَدْرَكَ رَكْعَةً مِنَ الصَّلَاةِ فَقَدْ أَدْرَكَ الصَّلَاةَ».

« Omuntu bw'asaanga eraaka [emu] aba asaanze esswala».

bagyegattako (bukari ne muslim), kyekitegeeza nti omuntu bwasanga akaseera akatasoboka kusaalibwamu raaka, aba tasanze swala.

Bwasanga eraaka ku swala ya aswiri, abange kimukakatako okusaala zuhuri ne aswiri, oba bwasaanga eraaka ku swala ya isha, abange kimukakatako okusala eswala ya maghrib ne isha?

ekyo kirimu okwawukana wakati wabamanyi, era ekisinga obutuufu nti temukakatako okuleka eyo gyaba asaanze ekiseera kyayo,era nga ye swala ya aswir ne isha zokka;

«مَنْ أَدْرَكَ رَكْعَةً مِنَ الْعَصْرِ قَبْلَ أَنْ تَغْرُبَ الشَّمْسُ فَقَدْ أَدْرَكَ الْعَصْرَ».

kulwekigambo kya Nabbi okusaasira nemirembe bibeere ku yye: «omuntu bwasaanga eraaka emu ku swala ya aswir nga enjuba tennagwa aba asanze [obudde bwa] aswir»,yayogerwa Bukhari ne Muslim. Teyagamba Nabbi okusaasira nemirembe bibeere ku yye: nti aba asaanze zuhuri ne aswiri. era teyagamba nti zuhuri eba emukakatako, nga ate ekikolo ye muntu okuba omwejjerevu, ekyo kyekigambo kya mazihabu ga imaam Abu Hanifa ne Imaam Maliki bisangibwa mukitabo ekya Al-muhazzabu.

Naye ate okutendereza Allah n'okuleeta takibira( Allahu akbar) n'okuleeta tasbiih( subuhana Allah) ne tahmiidi( Al-hamdulillah) n'okusoma bismillah nga ogenda okulya, n'okusoma hadithi ne fiqhi n'okusaba Allah n'okugamba Amiin nga omaze okusaba n'okuwuliriza Quran ebyo byonna tebimuziyizibwaako.

«أَنَّ النَّبِيَّ صَلَّى اللهُ عَلَيْهِ وَسَلَّمَ كَانَ يَتَّكِئُ فِي حِجْرِ عَائِشَةَ رَضِيَ اللهُ عَنْهَا وَهِيَ حَائِضٌ فَيَقْرَأُ الْقُرْآنَ».

kyakakata mu bitabo bukhari ne muslim n'ebirala, « Mazima Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye yali yesigama mu kifuba kya Aisha Allah amusiime nga ali mu nsonga(Aisha) nasoma Qur-an ».

Ne mu bitabo bukhari ne muslim nti ummu Atwiyya Allah amusiime nti yawulira Nabbi okusaasira nemirembe bibeere ku yye nga agamba:

«يَخْرُجُ الْعَوَاتِقُ وَذَوَاتُ الْخُدُورِ وَالْحُيَّضُ -يَعْنِي: إِلَى صَلَاةِ الْعِيدَيْنِ- وَلْيَشْهَدْنَ الْخَيْرَ، وَدَعْوَةَ الْمُؤْمِنِينَ، وَيَعْتَزِلُ الْحُيَّضُ الْمُصَلَّى».

«Bafuluma abawala abato n'abawala emberera n'abali munsonga-kitegeeza eri eswala ya idi zombiriri-bafune obulungi n'edduwa z'abakkiriza era n'abali mu nsonga babeere wala ne wetusaalira».

Naye ate ali mu nsonga okusoma Quran bwaba nga agitunulamu oba nga agifumiitirizaako n'omutima nga tayatula nalulimi tewaba mutawaana eky'okulabirako nga okutekawo Qur-an oba olubaawo natunula ku Aaya nazisoma mu mutima gwe. Yagamba Al-nawawi nga anyonyola ekitabo ekiyitibwa Al-muhazzab:« Kikkirizibwa awatali njawukana». naye bwekuba kusoma nga ayatula n'olulimi, abamanyi abasiinga obuungi bagamba nti kyaziyizibwa era tekikkirizibwa, Era yagamba Al-bukhari ne ibn jariir Al-tabari ne ibn Almunzir: nti kikkirizibwa. era kyaggibwa ku imaam maliki ne Al-shafi-e mu kigambo kyabwe ekikadde, ekigambo kyabwe ekyo kiri mu kitabo kya fat-hu Al-baari. era yagamba Al-bukhari nga anyonnyola nga aggya ku ibrahim Al-nakha-i: tekiyina buzibu kusoma aaya za Qur-an.

Era yagamba shiekh Al-islam ibn taymiyya mu fatuwa ezakuŋŋanyyizibwa ibn qasim: « Tewali mu sunna bujulizi bumugaana kusoma Quran, era ekigambo nti:« tasoma ali mu haidhwi wadde alina janaba kintu kyonna mu Qur-an» hadithi nnafu nabamanyi ba hadiithi bakyegattako, era abakyala balinga bagenda mu nsonga ku mulembe gwa Nabbi, singa okusoma kwali kwaziyibwa ku bbo nga eswala kyandibadde mw'ebyo byeyannyonnyola omubaka eri ekibiina kye era ba maama ba bakkiriza bandi badde baakimanya era kyandibadde mw'ebyo ebibuna mu bantu (nekibanga buli muntu akimanyi), Bwekiba nti teri yaggya ku Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye kuziyiza ku ekyo, kiba tekikkirizibwa ku kifuula haraamu nga kimanyikiddwa nti teyakiziyiza, era bwaba teyakiziyiza nga abakyala abagenda mu nsonga baaliwo nga bangi mu kiseera kye tukimanya nti tekiri haraamu».biweddeyo.

Era n'ekigwana oluvannyuma lw'okumanya enjawukana wakati w'abamanyi tugambe: Ekisiinga obulungi eri omukyala ali mu nsonga bwe butasoma Qur-an nga ayatula n'olulimi okujjako nga waliwo obwetaavu, nga okuba nga musomesa nga yetaaga okusomesa abayizi, oba okuba mu kiseera kya bibuuzo nga omuyizi yetaaga okusomerera ekibuuzo n'ebiriinga ebyo.

Etteeka ery'okubiri: Okusiiba: kizira ku mukyala ali mu nsonga okusiiba, okwetteeka n'okwakyeyagalire, era tekutuuka, naye ate akakatibwaako okuliwa okwetteeka; kulwa hadith ya Aisha Allah amusiime:

"كَانَ يُصِيبُنَا ذَلِكَ -تَعْنِي: الْحَيْضَ- فَنُؤْمَرُ بِقَضَاءِ الصَّوْمِ وَلَا نُؤْمَرُ بِقَضَاءِ الصَّلَاةِ".

«Kyali kitutuuka ko ekyo (eky’okugenda mu nsonga) ne tulagirwa okuliwa okusiiba ne tutalagirwa kuliwa swalah».yayogerwa bukhari ne muslim.

Era bwagenda mu nsonga nga asiibye okusiiba kwe kwonooneka, nebwekiba nga wabula katono enjuba egwe, era nakakatibwaako okuliwa olunaku olwo bwekuba kusiiba okwetteeka.

Naye ate bwawulira okuseseetuka kwa haidhwi nga enjuba tennagwa naye natafuluma mpaka nga enjjuba emaze okugwa, okusiiba kwe kuba kujjuvu era tekwonooneka ku kigambo ekituufu; kubanga omusaayi oguba munda tetugulamulirako; Era Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye bweyabuuzibwa ku mukyala alaba mutulo nga ekyo kyalaba omusajja [bweyeelooterera]: Abange akakatibwaako okunaaba?

قَالَ: «نَعَمْ، إِذَا هِيَ رَأَتِ الْمَاءَ». فَعَلَّقَ الْحُكْمَ بِرُؤْيَةِ الْمَنِيِّ لَا بِانْتِقَالِهِ، فَكَذَلِكَ الْحَيْضُ لَا تَثْبُتُ أَحْكَامُهُ إِلَّا بِرُؤْيَتِهِ خَارِجًا، لَا بِانْتِقَالِهِ.

N'agamba( Nabbi): iyye «bwalaba yye amazzi» nateeka okulamula ku kulaba mazzi agazaala so ssi kuseseetuka kw'ago, nabwekityo haidhwi amateeka gaayo tegakakata okujjako nakujilaba nga efulumye so ssi nakuseseetuka kwayo.

Era emmambya bw'esala nga ali mu nsonga tekutuuka okusiiba kwe olunaku olwo nebwaaba atukudde nga wakayita butikitiki oluvannyuma lw'emmambya okusala.

Era bwatukula nga wabula akaseera katono emmambya esale nasiiba, okusiiba kwe kukkirizibwa, nebwaba tanaabye mpaka nga emmambya emaze okusala, nabwekityo alina janaba singa amalirira okusiiba nga naye alina janaaba, natanaaba okutuusa nga ammambya emaze okusala okusiiba kwe kuba kutuufu;

"كَانَ النَّبِيُّ صَلَّى اللَّهُ عَلَيْهِ وَسَلَّمَ يُصْبِحُ جُنُبًا مِنْ جِمَاعٍ غَيْرِ احْتِلَامٍ ثُمَّ يَصُومُ فِي رَمَضَانَ".

Ku lwa hadith ya Aisha Allah amusiime yagamba : «Nti mazima omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku yye yali nga abukeesa nga ayina janaba olw'okwegatta nga ssi kweloterera oluvannyuma nasiiba Ramadhan».yayogerwa Al-bukahri ne muslim.

Etteeka elyokusatu: Okwetoloola ennyumba[ka-aba]: kizira ku yye okwetoloola kaaba, okwetteeka n'okwakyeyagalire, era tekutuuka;

«افْعَلِي مَا يَفْعَلُ الْحَاجُّ غَيْرَ أَلَّا تَطُوفِي بِالْبَيْتِ حَتَّى تَطْهُرِي».

Ku lw'ekigambo: kya Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye Aisha bweyageenda mu nsonga:« Kola buli kyonna haaji ky'akola okujjako okwetoloola kaaba mpaka nga omaze okutukula».

Naye ate ebikolwa ebisigadde nga okudduka wakati wa swafaa ne maruwa, n'okuyimirira mulusenyi Arafa, n'okusula e Muzidalifa ne e Minaa, n'okukuba ebiwagi n'ebirala mu mikolo gya hijja ne umra tebiziyizibwa ku yye, Nabwekityo singa omukyala yetoloola kaaba nga mutukuvu oluvannyuma haidhwi neggya nga yakamala okwetoloola kaaba, oba nga ali mu kudduka wakati wa swafaa ne maruwa ekyo tekirina mutawaana.

Etteeka ely'okuna: Okwetoloola okw'okusiibula okumusonyiyibwa: omukyala bwa jjuza emikolo gya hijja ne umra oluvannyuma nagenda mu nsonga nga tannaddayo mu nsi ye nabeera ne haidhwi okutuusa lwafuluma, mazima yye afuluma nga teyeetolodde kwetoloola kwa kusiibula; Olwa hadith eva ku Abdallah bun Abbaas -Allah abasiime- yagamba: "Yalagira Abantu okuba nti omulimu gwebasembyayo okukola (mu hijja) kwe kwetoloola kaaba, okujjako nti kwasonyiyibwa eri omukyala ali munsonga" [yayogera bukhari ne muslim].

Era tekigwaana ku mukyala ali mu nsonga kujja ku mulyango gw'omuzikiti ogw'emizizo[haram] nasaba mu kaseera k'okusiibula [nga addayo ewaabwe]; kubanga ekyo tekyajja kuva ku Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye, nga ate okusiinza ku zimbiddwa ku byajja (mu bujulizi), Nga ate ebyajja okuva ku Nabbi okusasira n'emirembe bibeere ku yye byawukana n'ekyo,

فَفِي قِصَّةِ صَفِيَّةَ رَضِيَ اللَّهُ عَنْهَا، حِينَ حَاضَتْ بَعْدَ طَوَافِ الْإِفَاضَةِ، أَنَّ النَّبِيَّ صَلَّى اللَّهُ عَلَيْهِ وَسَلَّمَ قَالَ لَهَا: «فَلْتَنْفِرْ إِذًا». مُتَّفَقٌ عَلَيْهِ.

Mu kyafaayo kya swafiyya Allah asiime ku yye mu kaseera bwe yafuna haidhwi nga amaze okwetoloola okwa ifaadha [okwokusumulukuka] nti Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye yamugaamba: « awo nno agende» yayogerwa Al-bukhari ne muslim.

Natalagira kugenda kumulyango gwa muzikiti, era singa kyali kya mu sharia yabusiraamu ya likinyonnyodde. Naye ate okwetoloola okwa hijja ne umra kwo tekumuggibwako, wabula aba alina okukwetoloola nga atukudde.

Okulamula okw'okutaano: Okubeera mu muzikiti: kizira ku mukyala ali mu nsonga okubeera mu muzikiti kawabe wetusaalira idi takkirizibwa kubeera wo,

لِحَدِيثِ أُمِّ عَطِيَّةَ رَضِيَ اللَّهُ عَنْهَا: أَنَّهَا سَمِعَتِ النَّبِيَّ صَلَّى اللَّهُ عَلَيْهِ وَسَلَّمَ يَقُولُ: «يَخْرُجُ الْعَوَاتِقُ وَذَوَاتُ الْخُدُورِ وَالْحُيَّضُ». وَفِيهِ: «يَعْتَزِلُ الْحُيَّضُ الْمُصَلَّى». مُتَّفَقٌ عَلَيْهِ.

Kulwa hadith ya Ummu Atwiyya Allah amusiime: nti yawulira omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku yye nga agamba: « Bafuluma abawala abato n'abawala emberera n'abali munsonga» era mulimu: «abali mu nsonga babeere wala newetusaalira». yayogerwa bukhari ne muslim.

Okulamula okw'omukaaga: Okwegatta: takkirizibwa ku bbaawe okwegatta naye, era takkirizibwa kumuwa mwagaanya ku kola ekyo;

Ekigambo kya Allah omusukkulumu:

﴿وَيَسۡـَٔلُونَكَ عَنِ ٱلۡمَحِيضِۖ قُلۡ هُوَ أَذٗى فَٱعۡتَزِلُواْ ٱلنِّسَآءَ فِي ٱلۡمَحِيضِ وَلَا تَقۡرَبُوهُنَّ حَتَّىٰ يَطۡهُرۡنَ...

{ Era bakubuuza (Ggwe Muhammadi) ku mukyala nga ali mu nnaku zaabwe (nga bali mu nsonga. Bagambe nti: Gwo (omusaayi), kyenyinyalwa kale nno mwesambe abakyala nga bali mu nsonga, era temubasemberera okutuusa lwe batukula} [Al- baqara:222], Ekitegezebwa ne mahiidhi wano: kyekiseera kya haidhwi n'ekifo mwava nabwo nga bwebwereere bw'omukyala;

وَلِقَوْلِ النَّبِيِّ صَلَّى اللَّهُ عَلَيْهِ وَسَلَّمَ: «اصْنَعُوا كُلَّ شَيْءٍ إِلَّا النِّكَاحَ». يَعْنِي: الْجِمَاعَ. رَوَاهُ مُسْلِمٌ

N'olw'ekigambo kya Nabbi okusaasira nemirembe bibeere ku yye: « mukole buli kimu okujjako okwegatta . yayogerwa muslim; Era n'okuba nti abasiraamu baakyegattako nti tekikkirizibwa kwegatta na mukyala mubwerere bwe.

Tekikkirizibwa ku muntu akkiriza Allah n'olunaku lwenkomerero kukola kintu ekyo ekyagaanibwa mu kitabo kya Allah ne mu sunna z'omubaka okusaasira n'emirembe bibeere ku yye, era abasiraamu kyebegattako, nabeera mwabo abajyemera Allah n'omubaka we, era nakwata ekkubo eritali kkubo lyabasiraamu, Yagamba imaam Al-shafi-e Allah amusaasire mu kitabo Almajmu-u sharhu almuhazzab olupapula 374 omuziingo 2: « Akola ekyo aba akoze ekyonoono e kinene». bagamba bannaffe mu mazihibu ga shafi-e nabalala: « omuntu yenna akifuula nti kikkirizibwa okwegatta n'omukyala ali mu nsonga alamulwaako nti avudde mu busiraamu». biweddeyo ebigambo bya Al-nawawii.

Naye ate Allah nannyini mateendo yamukkiriza- okukola ebyo ebimumalako obwagazi okutali kwegatta, nga okunwegera n'okuwambagatira n'okukwatirira kasita yewala obwereere, naye ate ekisiinga obulungi kwekwewala okumukwatirira ebiri wakati w'ekkundi n'amaviivi okugyako nga bibikke (nga ayina kya taddewo ekiziyiza);

لِقَوْلِ عَائِشَةَ رَضِيَ اللَّهُ عَنْهَا: «كَانَ النَّبِيُّ صَلَّى اللَّهُ عَلَيْهِ وَسَلَّمَ يَأْمُرُنِي فَأَتَّزِرُ، فَيُبَاشِرُنِي وَأَنَا حَائِضٌ». مُتَّفَقٌ عَلَيْهِ.

Kulwekigambo kya Aisha Allah amusiime: « Nabbi okusaasira nemirembe bibeere ku yye yali nga andagira ne nnesiba enkutu nankwatirira nga nange ndi mu nsonga». bagyegattako.

Okulamula okw'omusaanvu: Talaka: tekkirizibwa musajja kuta mukyala ali mu nsonga;

Kulwekigambo kya Allah omusukkulumu:

﴿يَاأَيُّهَا النَّبِيُّ إِذَا طَلَّقْتُمُ النِّسَاء فَطَلِّقُوهُنَّ لِعِدَّتِهِنَّ...

{Owange ggwe Nabbi! bwe muba (mwagadde) okuta abakyala(bammwe), mu bateerenga mu butukuvu bwabwe} [Al-talaaq:1] Kitegeeza: obudde bwebateerwamu bayina okuba nga bali mu mbeera ebasobozesa okutuula idda, era ekyo tekibeerawo okujjako nga omukyala ali lubuto oba nga amutadde nga mutukuvu nga teyegasse naye; Kubanga singa ateebwa nga ali mu nsonga aba tasobola kutuula idda kubanga haidhwi eyo webamuteeredde tebalibwa mu bbanga lya idda, ate singa ateebwa nga mutukuvu nga bba we yegasse naye, idda gyaba agenda okutuula eba temanyikiddwa lwansoonga tetumanyi oba yafunye olubuto olwokwegatta. atuule idda y'owoolubuto, oba teyafunye lubuto atuule eyooyo atali lubuto, Bwekiba nti omuteeko gwa idda tegumanyikiddwa kizira ku musajja okumuta okutuusa nga okubuzaabuzibwa kuvuddewo.

Okuta omukyala ali mu nsonga tekikkirizibwa ku lwa aaya eyakulembedde;

وَلِمَا ثَبَتَ فِي الصَّحِيحَيْنِ وَغَيْرِهِمَا مِنْ حَدِيثِ ابْنِ عُمَرَ: «أَنَّهُ طَلَّقَ امْرَأَتَهُ وَهِيَ حَائِضٌ، فَأَخْبَرَ عُمَرُ بِذَلِكَ النَّبِيَّ صَلَّى اللَّهُ عَلَيْهِ وَسَلَّمَ، فَتَغَيَّظَ فِيهِ رَسُولُ اللَّهِ صَلَّى اللَّهُ عَلَيْهِ وَسَلَّمَ، وَقَالَ: مُرْهُ فَلْيُرَاجِعْهَا، ثُمَّ لِيُمْسِكْهَا حَتَّى تَطْهُرَ، ثُمَّ تَحِيضَ، ثُمَّ تَطْهُرَ، ثُمَّ إِنْ شَاءَ أَمْسَكَ بَعْدُ، وَإِنْ شَاءَ طَلَّقَ قَبْلَ أَنْ يَمَسَّ، فَتِلْكَ الْعِدَّةُ الَّتِي أَمَرَ اللَّهُ أَنْ تُطَلَّقَ لَهَا النِّسَاءُ».

Ne kulwa hadith eri mu bitabo ebituufu ebibiri n'ebirala nga eva ku ibn Umar « Nti yata mukyala we nga ali mu nsonga, taate we Umar nakibuulira Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye, Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye nekimunyiiza nagamba: « Mulagire amuzze oluvannyuma abeerewo mpaka bwanaatukula, oluvannyuma agende mu nsonga, oluvannyuma atukule, oluvannyuma bwaba ayagadde amusigaze, oba bwaba ayagadde amute nga tamukutteeko(nga teyegasse naye), eyo ye idda Allah gyeyalagira okuta nayo abakyala», Singa omusajja ata omukyala nga ali mu nsonga afuna omusango, era alina okwenenyeza Allah, n'okuzza omukyala oyo oluvannyuma amute oluta oluli mu mateeka olukwatagana n'ekiragiro kya Allah n'omubaka we, amuleka nga amukomezaawo okutuuka bwatukula okuva mu haidhwi jeyamutereddemu, oluvannyuma agende mu nsonga omulundi omulala, oluvannyuma bwatukula bwaba ayagadde amusigaze oba bwaba ayagadde amute nga tanneegatta naye. Era waliwo embeera ssatu ezikkirizibwaamu okuteeramu omukyala nga ali mu haidhwi(nsonga):

Esooka: Singa amuta nga tanneyawula naye, oba kwegatta naye tewaba buzibu ku muta nga ali mu nsonga; kubanga mu mbeera eyo aba tayina kutuula idda era okuta okwo tekubaamu kwawukana namateeka

Ku lw'ekigambo kya Allah:

﴿...فَطَلِّقُوهُنَّ لِعِدَّتِهِنَّ...

{mu bateerenga mu idda (ekiseera ekimanyikiddwa)} [Al-talaaq:1].

Embeera ey'okubiri: Singa agenda mu nsonga nga ali lubuto, nga bwekyanyonnyoddwa( nti idda ye ekoma nga azadde).

Embeera ey'okusatu: Talaka ey'okuwanyisa, tekiba na buzibu ku muta ne bwaba ali mu nsonga.

Eky'okulabirako singa wabaawo obutakkaanya nenneyisa embi wakati wabafumbo ababiri awo omusajja asobola okukkiriza okumuddiza ebintu bye alyoke akkirize okuta omukyala, ekyo ki kkirizibwa omukyala nebwaba nga ali mu nsonga;

لِحَدِيثِ ابْنِ عَبَّاسٍ رَضِيَ اللَّهُ عَنْهُمَا: أَنَّ امْرَأَةَ ثَابِتِ بْنِ قَيْسِ بْنِ شَمَّاسٍ جَاءَتْ إِلَى النَّبِيِّ صَلَّى اللَّهُ عَلَيْهِ وَسَلَّمَ، فَقَالَتْ: يَا رَسُولَ اللَّهِ، إِنِّي مَا أَعْتِبُ عَلَيْهِ فِي خُلُقٍ وَلَا دِينٍ، وَلَكِنْ أَكْرَهُ الْكُفْرَ فِي الْإِسْلَامِ. فَقَالَ النَّبِيُّ صَلَّى اللَّهُ عَلَيْهِ وَسَلَّمَ: «أَتَرُدِّينَ عَلَيْهِ حَدِيقَتَهُ؟» قَالَتْ: نَعَمْ. فَقَالَ رَسُولُ اللَّهِ صَلَّى اللَّهُ عَلَيْهِ وَسَلَّمَ: «اقْبَلِ الْحَدِيقَةَ، وَطَلِّقْهَا تَطْلِيقَةً». [رَوَاهُ الْبُخَارِيُّ].

Ku lwa hadithi ya Ibun Abbas Allah amusiime yagamba nti mukyala wa Thabit mutabani wa Qayisi mutabani wa shamaasi yajja eri Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye yagamba nti: owange omubaka wa Allah mazima nze sinenya Thabit lwa mpisa mbi wadde eddiini, naye ntya okweyisa nga atali musiraamu nga ate ndi musiraamu, Nabbi nagamba okusaasira n'emirembe bibeere ku yye: « Okkiriza okumuddiza ennimiro ye gyeyakuwa nga amahare?» nagamba : iyye omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku yye: Omubaka nagamba thabit:« kiriza ennimiro omute oluta lumu». [yayogerwa al-bukhariyyu]. Era natabuuza Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye: nti ali mu nsonga oba mutukuvu? era kubanga talaka eyo guba mutango okuva eri omukyala, nekkirizibwa olw'obwetaavu gyeri nga tetutunuulidde mbeera ye(ali mu haidhwi oba nedda).

Yagamba mukitabo Al-mughni nga annyonnyola nti kikkirizibwa omukyala okweyambulula bba nebwaba nga ali mu nsonga olupapula 52 omuziingo 7. «Okuta omukyala nga ali mu nsonga kyaziyizibwa olw'obuzibu bwafuna nti idda ye eba ejja kuwanvuwa, ate omukyala okweyambulula omusajja lw'akuziyiza buzibu omukyala bwasanga olw'okuyisibwa obubi n'okubeera n'omuntu gw'atamwa era gwanyiigira, era ekyo kyekisiinga okubaamu obuzibu okusiinga okuwanvuwa kwa idda, nekikkirizibwa okuwaayo ekisiinga okuba ekyebbeeyi afune ekitono; n'olwekyo Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye teyabuuza mbeera ye». biweddeyo ebigambo bye.

Ate okuwoowa omukyala nga ali mu nsonga tekirina buzibu; kubanga okukkirizibwa ky'ekikolo [ky'ebintu], ate nga tewali bujulizi bukiziyiza, naye ate omusajja okuyingira gyali nga ali mu nsonga kitunulwaamu, bwaba omusajja nga asobola okwekomako nateegatta na mukyala oyo tekiba nabuzibu, bwekitaba ekyo tayingira gyali okutuuka nga amaze okutukula olw'okutya okugwa mu kyaziyizibwa.

Okulamula okw'omunaana: okumanya idda ya talaka -ne haidhwi: omusajja bwata mukyala we nga amaze okwegatta naye oba nga yeyawudde naye( nga bwebanabeera mu kifo ekyekusifu nga baliwo bokka naye nga teyegasse naye) kikakata ku mukyala okutuula idda ya haidhwi ssatu ezijjudde, singa omukyala akyali mumyaka ejigenda mu nsonga, era nga tali lubuto;

Kulwekigambo kya Allah omusukkulumu:

﴿وَٱلۡمُطَلَّقَٰتُ يَتَرَبَّصۡنَ بِأَنفُسِهِنَّ ثَلَٰثَةَ قُرُوٓءٖ...

{Abakyala abaweereddwa talaka bateekeddwa okumala ebbanga lya ntukula ssatu } [Al-baqara:228], Ekitegeeza: haidhwi ssatu. Bwaba nga ali lubuto idda ye eba yakuzaala, kebeere idda nga ewanvuye oba eyimpaye;

Kulwekigambo kya Allah omusukkulumu:

﴿...وَأُوْلَاتُ الأَحْمَالِ أَجَلُهُنَّ أَن يَضَعْنَ حَمْلَهُنَّ...

{Ate ab’embuto ekiseera kyabwe kiggwaako nga bazaala embuto zabwe} [Al-talak:4]. Ate omukyala bwaba nga tali mw'abo abagenda mu nsonga, nga omuto atannatandika kugenda mu nsonga oba atakyagenda mu nsonga olw'obukulu oba nga yaggibwaamu nabaana oba ebiriinga ebyo nga tasuubira kuddamu kugenda mu nsonga, idda ye eba yamyeezi esatu;

Olwekigambo kya Allah omusukkulumu:

﴿وَاللَّائِي يَئِسْنَ مِنَ الْمَحِيضِ مِن نِّسَائِكُمْ إِنِ ارْتَبْتُمْ فَعِدَّتُهُنَّ ثَلَاثَةُ أَشْهُرٍ وَاللَّائِي لَمْ يَحِضْنَ...

{Abo bonna mu bakyala ba mmwe abatakyagenda mu nsonga , bwemubuusabuusa ebbanga lya Idda yaabwe, balindenga emyezi esatu, nabo abatanatandika nsonga} [Al-talak:4], Ate bwe babeera nga bagenda mu nsonga naye ate nga haidhwi tekyaggya olw'ensonga nga obulwadde oba okuyonsa, mazima yye asigala mu idda nebweeba ewanvuye okutuusa haidhwi bwekomawo n'alyoka atuula idda nayo, ensonga bwevaawo haidhwi netakomawo, nga okuba nti obulwadde buwonye oba nga amaze okuyonsa, haidhwi nesigala nga tekyajja, yye atuula omwaka mulamba nga ensonga eyo emaze okuvaawo, Ekyo ky'ekigambo ekituufu, ekikwatagana n'emisingi gyamateeka g'obusiraamu, Mazima yyo ensonga bwemala okuvaawo haidhwi netakomawo abeera nga oyo atakyagenda mu nsonga olw'ensonga etamanyikiddwa, nga ate haidhwi bwelekeraawo olwensonga etamanyikiddwa, yye atuula omwaka mulamba, emyeezi mwenda gyalubuto mu kugeraageranya; kubanga kyekisinga okubaawo; n'emyeezi esatu gya idda.

Naye ate talaka bwebeerawo oluvannyuma lw'okuwoowa naye ate nga tebannegatta wadde okweyawula, tewabaawo idda nakamu;

Olw'ekigambo kya Allah omusukkulumu:

﴿يَاأَيُّهَا الَّذِينَ آمَنُوا إِذَا نَكَحْتُمُ الْمُؤْمِنَاتِ ثُمَّ طَلَّقْتُمُوهُنَّ مِن قَبْلِ أَن تَمَسُّوهُنَّ فَمَا لَكُمْ عَلَيْهِنَّ مِنْ عِدَّةٍ تَعْتَدُّونَهَا...

{Abange mmwe abakkiriza bwe muwasanga abakyala abakkiriza ate ne mubata nga temunnabakwatako (nga temunegatta nabo), temubalinaako Idda zebatuula (nga tebannafumbirwa basajja balala)} [Al-ahazaab:49].

Okulamula okw'omwenda: Obukalu bwa nabaana, oba obutaba nalubuto, (ekyo kiyina akakwaate n'okugenda kw'omukyala mu nsonga) era kiyina ensonga ezenjawulo:

Muzzo: Singa omuntu (alina akakwaate ku mukyala) afa nga alina eby'obusika. okumanya nti omukyala ali lubuto oba nedda kituyambako okumanya engabana y'ebyobusika. bbawe teyegatta naye okutuusa nga agenzeeko mu nsonga, ekitegeeza nti nabaana mwereere era tewali kusika, ate bwekitegeerekeka nti ali lubuto mu kiseera omufu gwebasikira wafiiridde, mu mbeera eno okugaba eby'obusika bibuna n'omwana ali mu lubuto agenda okuzaalibwa.

Okulamula okw'ekkumi: Obw'etteeka bw'okunaaba: kyatteeka ku mukyala okunaaba n'atukuza omubiri gwe gwonna bwava mu nsonga:

لِقَوْلِ النَّبِيِّ صَلَّى اللَّهُ عَلَيْهِ وَسَلَّمَ لِفَاطِمَةَ بِنْتِ أَبِي حُبَيْشٍ: «فَإِذَا أَقْبَلَتِ الْحَيْضَةُ فَدَعِي الصَّلَاةَ، وَإِذَا أَدْبَرَتْ فَاغْتَسِلِي وَصَلِّي» [رَوَاهُ الْبُخَارِيُّ].

Ku lw'ekigambo kya Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye eri Fatuma bint Hubaish: « haidhwi bwejja lekayo okusaala, bw'egenda naaba era osaale»[yayogerwa Al-bukhari]

Ekiseembayo obutono mu bwetteeka ng'anaaba, kwekunaaba omubiri gwe gwonna nga okutuusa ne wansi w'enviiri, era nennaaba esiinga obulungi yeeyo eyajja mu hadith

«عَنِ النَّبِيِّ صَلَّى اللَّهُ عَلَيْهِ وَسَلَّمَ حَيْثُ سَأَلَتْهُ أَسْمَاءُ بِنْتُ شَكَلٍ عَنْ غُسْلِ الْمَحِيضِ، فَقَالَ صَلَّى اللَّهُ عَلَيْهِ وَسَلَّمَ: «تَأْخُذُ إِحْدَاكُنَّ مَاءَهَا وَسِدْرَتَهَا فَتَطَهَّرُ فَتُحْسِنُ الطُّهُورَ، ثُمَّ تَصُبُّ عَلَى رَأْسِهَا فَتَدْلُكُهُ دَلْكًا شَدِيدًا، حَتَّى تَبْلُغَ شُؤُونَ رَأْسِهَا، ثُمَّ تَصُبُّ عَلَيْهَا الْمَاءَ، ثُمَّ تَأْخُذُ فُرْصَةً مُمَسَّكَةً - أَيْ: قِطْعَةَ قُمَاشٍ فِيهَا مِسْكٌ - فَتَطَهَّرُ بِهَا»، فَقَالَتْ أَسْمَاءُ: كَيْفَ تَطَهَّرُ بِهَا؟ فَقَالَ: «سُبْحَانَ اللَّهِ!»، فَقَالَتْ عَائِشَةُ لَهَا: تَتَبَّعِينَ أَثَرَ الدَّمِ». [رَوَاهُ مُسْلِمٌ].

« Asma binti shakli bweyabuuza nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye ku kunaaba kw'omukyala avudde mu nsonga, Nagamba Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye: « omu ku mmwe akozese amazzi ( atabikemu omuti) gwa sidiri yetukuze bulungi, oluvannyuma ayiwe amazzi mu mutwe gwe agukuute bulungi, okutuusa mu ntobo y'enviiri, oluvannyuma aguyiweko amazzi, oluvannyuma afune akawero akaliko akawoowo- yetukuze nako», Asma nagamba: netukuza ntya nako? neyewuunya omubaka wa Allah nagamba:« amatendo ga Allah!»,`Aisha nagamba: kakozese nga ogoberera obuufu bw'omussayi. [yayogerwa muslim]

Era sikyatteeka okusumulula enviiri, okujjako nga ebituttwa byamaanyi nga tutya amazzi obutatuuka wansi w'enviiri;

لِمَا فِي صَحِيحِ مُسْلِمٍ مِنْ حَدِيثِ أُمِّ سَلَمَةَ رَضِيَ اللَّهُ عَنْهَا أَنَّهَا سَأَلَتِ النَّبِيَّ صَلَّى اللَّهُ عَلَيْهِ وَسَلَّمَ فَقَالَتْ: إِنِّي امْرَأَةٌ أَشُدُّ شَعْرَ رَأْسِي، أَفَأَنْقُضُهُ لِغُسْلِ الْجَنَابَةِ؟ وَفِي رِوَايَةٍ: لِلْحَيْضَةِ وَالْجَنَابَةِ؟ فَقَالَ: «لَا، إِنَّمَا يَكْفِيكِ أَنْ تَحْثِيَ عَلَى رَأْسِكِ ثَلَاثَ حَثَيَاتٍ، ثُمَّ تُفِيضِينَ عَلَيْكِ الْمَاءَ فَتَطْهُرِينَ».

Olwa hadith ya ummu salama Allah yasiima ku yye eri mu kitabo kya swahiihi muslim nti yabuuza Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye nagamba: Ndi mukyala asiba enviiri z'omutwe gwange, nzisumulula nga nnaaba jjanaba? ne munjogera endala: haidhwi ne jjanaba? nagamba: « nedda, kikumalira okuyiwa mu mutwe gwo amazzi emirundi esatu oluvannyuma neweeyiira amazzi n'otukula».

Ate omukyala bwatukula mu kiseera kye swala ki mukakatako okwanguyiriza okunaaba asobobole okusanga eswala mu kiseera kyayo, bwaba nga ali mu lugendo nga talina mazzi oba nga alina amazzi naye nga atya okkosebwa singa agakozesa, oba nga abadde mulwadde nga amazzi gamukosa, akozesa enfuufu mukifo kya mazzi okutuusa ekimuziyiza bwekivaawo oluvannyuma n'anaaba.

Abamu mu bakyala batukula mu kiseera kye swala, ne bakeereya okunaaba mpaka ku kiseera ekiddako nga bagamba: nti ekiseera [kifunda] tekimusobozesa kufuna kutukula okujjuvu, naye ate eyo si nsonga wadde ekisonyiyisa; Kubanga asobola okukoma ku nnaaba eyetteeka, n'asaala eswala mu kiseera kyayo, oluvannyuma bwafuna obudde obumumala yetukuza olutukula olujjuvu.

Ennyingo eyokutaano: ekikulukuto (ekyalaalo) n'amateeka gakyo.

Ekikulukuto: Ye mukyala okuvaamu omusaayi olubeerera obutakoma, oba nga gusirikamu akeseera katono nga olunaku lumu oba ennaku bbiri mu mwezi.

Obujulizi bw'embeera esooka: omusaayi ogutakoma ye hadith eri mu swahihil Albukari okuva ku Aisha Allah amusiime yagamba:

«قَالَتْ فَاطِمَةُ بِنْتُ أَبِي حُبَيْشٍ لِرَسُولِ اللَّهِ صَلَّى اللَّهُ عَلَيْهِ وَسَلَّمَ: يَا رَسُولَ اللَّهِ، إِنِّي لَا أَطْهُرُ». وَفِي رِوَايَةٍ: «أُسْتَحَاضُ فَلَا أَطْهُرُ».

«Fatuma muwala wa Abi hubaishi yagamba omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku yye: owange ggwe omubaka wa Allah, nze situkula. ne munjogera endala: ngenda mu nsonga naye sivaamu».

N'obujulizi obw'embeera eyokubiri: Omusaayi nga gusirikamu akaseera katono ye hadith ya Hamna binti jahshi bweyajja eri Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye nagamba:

«يَا رَسُولَ اللَّهِ، إِنِّي أُسْتَحَاضُ حَيْضَةً كَثِيرَةً شَدِيدَةً». [الْحَدِيثُ.. رَوَاهُ أَحْمَدُ وَأَبُو دَاوُدَ وَالتِّرْمِذِيُّ وَصَحَّحَهُ، وَنُقِلَ عَنِ الْإِمَامِ أَحْمَدَ تَصْحِيحُهُ، وَعَنِ الْبُخَارِيِّ تَحْسِينُهُ].

« Owange omubaka wa Allah `Nze wengenda mu nsonga nvaamu omusaayi nga mungi ». [yayogerwa Ahmad ne Abu daudi ne Tirmithi era kyaggibwa ku Imaam Ahmad nti ntuufu ne Al-bukahri nti hadith nungi].

Embeera z'ekikulukuto:

Omukyala w'ekikulukuto alina embeera ssatu:

Embeera esooka: Okuba nga abadde nebbanga elimanyikiddwa lyamala mu nsonga, oyo addayo n'abalira ku bbanga lye erya haidhwi eryemabega, n'atuula mu lyo nga atambulira ku mateeka ga haidhwi, ebbanga erisigaddeyo kibeera kikulukuto, era atambulira ku mateeka ga kikulukuto.

Ekyokulabirako ye mukyala nga yali amala mu nsonga ennaku mukaaga kuntandikwa ya buli mwezi, oluvannyuma nafuna obuzibu bw'ekikulukuto naba nga omusaayi gumuvaamu obutakoma, kibalibwa nti abeera mu nsonga ennaku mukaaga, ezisigadde kiba kikulukuto;

لِحَدِيثِ عَائِشَةَ رَضِيَ اللَّهُ عَنْهَا أَنَّ فَاطِمَةَ بِنْتَ أَبِي حُبَيْشٍ قَالَتْ: يَا رَسُولَ اللَّهِ، إِنِّي أُسْتَحَاضُ فَلَا أَطْهُرُ، أَفَأَدَعُ الصَّلَاةَ؟ قَالَ: «لَا، إِنَّ ذَلِكِ عِرْقٌ، وَلَكِنْ دَعِي الصَّلَاةَ قَدْرَ الْأَيَّامِ الَّتِي كُنْتِ تَحِيضِينَ فِيهَا، ثُمَّ اغْتَسِلِي وَصَلِّي». رَوَاهُ الْبُخَارِيُّ.

Olwa hadithi ya Aisha Allah amusiime nti mazima fatuma binti abi hubaishi yagamba nti: owange ggwe omubaka wa Allah, nze nina ekikulukuto omusaayi tegukoma, ndekeyo okusaala? nagamba: « Nedda, ogwo musaayi mufu, wabula lekayo okusaala munnaku zobadde omala mu nsonga oluvannyuma onaabe era osaale» yayogerwa Al-bukhari,

وَفِي صَحِيحِ مُسْلِمٍ: أَنَّ النَّبِيَّ صَلَّى اللَّهُ عَلَيْهِ وَسَلَّمَ قَالَ لِأُمِّ حَبِيبَةَ بِنْتِ جَحْشٍ: «امْكُثِي قَدْرَ مَا كَانَتْ تَحْبِسُكِ حَيْضَتُكِ، ثُمَّ اغْتَسِلِي وَصَلِّي».

Era mu swahiihi muslim: Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye yagamba ummu habiiba binti jahshi: « Lekayo okusaala munnaku zobadde omala mu nsonga oluvannyuma onaabe era osaale». N'olwekyo omukyala ow'ekikulukuto eyali agenda mu nsonga ennaku ezimanyikiddwa atuula ennaku zabadde amala mu nsonga oluvannyuma n'anaaba era n'asaala nga tafudde ku musaayi ogujja mu kiseera ekyo.

Embeera eyokubiri: Okuba nga talina [naku] za haidhwi zimanyikiddwa bweyali tannalwala kikulukuto, oyo akozesa okwawula neguba nti omusaayi gwa haidhwi gwawulwa ku gusigadde nabuddugavu, oba obukwaafu oba olusu awonno tugubala nti gwa haidhwi, era amateeka ga haidhwi negakakata ku ggwo, ogutali ogwo netugubala nti kikulukuto.

Ekyokulabirako omukyala okulaba omusaayi kuntandikwa, munnaku ekkumi ezisooka neguba muddugavu ennaku ezisigadde neguba mumyuufu, oba neguba mukwaafu munnaku ekkumi ezisooka oluvannyuma negufuuka gwa lujjulungu ennaku ezisigadde oba neguba n'olusu munnaku ekkumi ezisooka oluvannyuma negutaba nalusu,omukwaafu omuddugavu ogulina olusu eba haidhwi ogutali ogwo kiba kikulukuto;

لِقَوْلِ النَّبِيِّ صَلَّى اللَّهُ عَلَيْهِ وَسَلَّمَ لِفَاطِمَةَ بِنْتِ أَبِي حُبَيْشٍ: «إِذَا كَانَ دَمُ الْحَيْضَةِ فَإِنَّهُ أَسْوَدُ يُعْرَفُ، فَإِذَا كَانَ ذَلِكِ فَأَمْسِكِي عَنِ الصَّلَاةِ، فَإِذَا كَانَ الْآخَرُ فَتَوَضَّئِي وَصَلِّي؛ فَإِنَّمَا هُوَ عِرْقٌ». [رَوَاهُ أَبُو دَاوُدَ وَالنَّسَائِيُّ، وَصَحَّحَهُ ابْنُ حِبَّانَ وَالْحَاكِمُ].

Ku lw'ekigambo kya Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye bweyagamba fatuma muwala wa abi hubaishi: « Bweguba musaayi gwa haidhwi, ggwo gumanyibwa guba muddugavu, bweguba ggwo yimiriza okusaala, bweguba mulala funa wuzu osaale; mazima guba musaayi omufu [oguva mu misuwa]», [yayogerwa Abu Dauda ne Nasa-e, era Ibn hibbaani ne Al-hakim bagilamulako nti ntuufu]. Eyo hadith newankubadde mu bigambo n'olugyegere lw'abaagyogera biriko akabuuza, abamanyi Allah asiime ku bbo bagikolerako, era nga kyekisiinga obulungi obutagikozesa okusinga okulamula nga tukozesa embeera yabakyaala abasinga obungi.

Embeera ey'okubiri: omukyala nga ebiseera bye ebya haidhwi nga tebimanyikIddwa era nga tasobola kwawula bulungi. okuba nti omusaayi ogumuvaamu gulabikira mu bitendo byakika kimu oba nga ebitendo ebyenjawulo nga tetusobola kuguyita haidhwi, Oyo akolera ku mbeera ya bakyala abasiinga obungi, n'abala ennaku mukanga oba musanvu buli mu mwezi nga ye haidhwi, okutandikira ku lunaku olusooka walabidde omusaayi, ezisigadde neziba za kikulukuto.

Ekyokulabirako: Omukyala alaba omusaayi omulundi gwe ogusooka, ku lunaku olwokutaano olw'omwezi negugenda mu maaso n'okumuvaamu nga tasobola kwawula bulungi haidhwi mu langi oba olusu n'ebirala, awo tubala nti haidhwi wa nnaku mukaaga oba musaanvu mubuli mwezi nga tutandikira kulunaku olw'okutaano mu buli mwezi;

لِحَدِيثِ حَمْنَةَ بِنْتِ جَحْشٍ رَضِيَ اللَّهُ عَنْهَا أَنَّهَا قَالَتْ: يَا رَسُولَ اللَّهِ، إِنِّي أُسْتَحَاضُ حَيْضَةً كَبِيرَةً شَدِيدَةً، فَمَا تَرَى فِيهَا؟ قَدْ مَنَعَتْنِي الصَّلَاةَ وَالصِّيَامَ، فَقَالَ صَلَّى اللَّهُ عَلَيْهِ وَسَلَّمَ: «أَنْعَتُ لَكِ (أَصِفُ لَكِ اسْتِعْمَالَ) الْكُرْسُفَ (وَهُوَ الْقُطْنُ)، تَضَعِينَهُ عَلَى الْفَرْجِ، فَإِنَّهُ يُذْهِبُ الدَّمَ»، قَالَتْ: هُوَ أَكْثَرُ مِنْ ذَلِكَ. وَفِيهِ قَالَ: «إِنَّمَا هَذِهِ رَكْضَةٌ مِنْ رَكْضَاتِ الشَّيْطَانِ، فَتَحَيَّضِي سِتَّةَ أَيَّامٍ أَوْ سَبْعَةً فِي عِلْمِ اللَّهِ تَعَالَى، ثُمَّ اغْتَسِلِي حَتَّى إِذَا رَأَيْتِ أَنَّكِ قَدْ طَهُرْتِ وَاسْتَنْقَأْتِ، فَصَلِّي أَرْبَعًا وَعِشْرِينَ أَوْ ثَلَاثًا وَعِشْرِينَ لَيْلَةً وَأَيَّامَهَا، وَصُومِي». الْحَدِيثُ. [رَوَاهُ أَحْمَدُ وَأَبُو دَاوُدَ وَالتِّرْمِذِيُّ وَصَحَّحَهُ، وَنُقِلَ عَنْ أَحْمَدَ أَنَّهُ صَحَّحَهُ، وَعَنِ الْبُخَارِيِّ أَنَّهُ حَسَّنَهُ].

Ku lwa hadith ya hamna bint jahshi Allah amusiime yagamba: owange ggwe omubaka wa Allah nti mazima nze nvaamu omusaayi ogwamaanyi era omungi, okilaba otya (nkole ntya)? gunnemesezza okusaala n'okusiiba, Nabbi okusaasira n'emireembe bibeere ku yye namugamba: «Nkubuulira nti kozesa akawero (aka kotoni) okateeke ku bwereere ewava omusaayi mazima ggwo gujja kulekeraawo», nagamba hamna: gusiingako awo [obungi n'amanyi}] awo Nabbi nagamba: « mazima okwo kusambibwa okuva eri sitaani, awo bala ennaku mukaaga oba musaanvu zibeere za haidhwi, oluvannyuma onaabe okutuusa bwolaba nti otukudde osaale ebiro abiri mubina(24) oba abiri mubisatu(23) n'emisana gy'abyo era osobola n'okusiiba» hadith [yayogerwa imaam Ahmad ne Abu daud ne Tirmithi era yagamba hadith ntuufu, era kyajjibwa ku Ahmad nti ntuufu, ne ku Al-bukhari nti hadith nnungi].

N'ekigambo ky'omubaka okusaasira n'emirembe bibeere ku yye: « ennaku mukaaga oba musaanvu» ssi zakulondako wabula kyakufaayo nakwetegereza atunulire kw'oyo ali okumpi n'embeera ze, kwabo abamufaanana mu butonde n'abo abali okumpi n'emyaka gye, n'aboluganda lwe, nabo bebafaanaganya nabo endwala eya haidhwi n'ebirala ebiringa ebyo. Singa eziri okumpi nga nnaku mukaaga azifuule mukaaga, bwezibeera musanvu azifuule musanvu.

Embeera y'omukyala afaanana omukyala ow'ekikulukuto:

kisoboka ku mukyala okuvaamu omusaayi mubwereere bwe olwensonga nga [omukyala okulongosebwa nabaana], era kino kirimu emiteeko ebiri:

Omuteeko ogusooka: kw'ekutegeera nti takyaddamu kugenda mu nsonga oluvannyuma lw'okulongoosebwa eky'okulabirako nga okubeera nti mu kulongoosebwa yagibwaamu nabaana yonna oba nga bagizibikira nga tekyasobola kufulumya musaayi, omukyala oyo amateeka ga haidhwi tegamukwatako, naye alamulwa nga omukyala alabye amazzi aga kyenvuyirivu oba agakitaka oba avaamu oluzizzi oluvannyuma lw'okutukula, talekaayo kusaala wadde kusiiba era tagaanibwa kwegatta na bbawe era tekimukakatako kunaaba olw'omusaayi ogwo, naye kimukakatako okwenazaako omusaayi buli swala, n'okusiba kubwereere bwe ekiwero oba ekikifaanana; omusaayi guleme kukulukuta, oluvannyuma nafuna wuzu y'eswala era ajifuna ekiseera kye swala kimaze okutuuka bweba swala eyetteka, bweba yakyeyagalire agifuna wonna waba ayagalidde okugisaalira.

Omuteeko ogw'okubiri: okuba nga tamanyi anaddamu okugenda mu nsonga zabakyala oluvannyuma lw'okulongoosebwa?, wabula nga waliwo okusuubira nti asobola okugenda mu nsonga, oyo alamulwako nga ow'ekikulukuto, n'obujulizi kw'ekyo kyekigambo kya Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye eri fatuma binti abi hubaishi:

»إِنَّمَا ذَلِكِ عِرْقٌ وَلَيْسَ بِالْحَيْضَةِ، فَإِذَا أَقْبَلَتِ الْحَيْضَةُ فَاتْرُكِي الصَّلَاةَ

« Mazima ogwo musaayi oguva mu misuwa, yye si haidhwi, naye haidhwi bwa jja lekayo okusaala». Mukigambo kye: « Haidhwi bwajja» kiraga nti amateeka agafuga ow'ekikulukuto gakola ku mukyala agenda mu haidhwi najja ate nagenda, ate oyo atagenda mu haidhwi mazima ogwo omusaayi gwe guba gwa bulwadde mu mbeera yonna.

Amateeka g'ekikulukuto:

Kyetutegeera mu byakulembedde, nti ebbanga omusaayi bweguba gwa haidhwi amateeka ga haidhwi gakola, ate bweguba gwa kikulukuto amateeka g'ekikulukuto ge gakola.

Era ebikulu mu mateeka ga haidhwi byayogeddwa.

Naye ate amateeka g'ekikulukuto ge mateeka g'obutukuvu (omukyala nga tali mu nsonga), tewali njawulo wakati w'omukyala ali mu kikulukuto n'omutukuvu okuleka ku bino wammanga:

Ekisooka: obwetteeka bw'okufuna wuzu ku yye buli swala,

لِقَوْلِ النَّبِيِّ صَلَّى اللَّهُ عَلَيْهِ وَسَلَّمَ لِفَاطِمَةَ بِنْتِ أَبِي حُبَيْشٍ: «ثُمَّ تَوَضَّئِي لِكُلِّ صَلَاةٍ». رَوَاهُ الْبُخَارِيُّ فِي بَابِ غَسْلِ الدَّمِ.

ku lw'ekigambo kya Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye eri fatuma binti hubaishi: « Oluvannyuma ofune wuzu buli swala». yayogerwa Al-bukhaari mu mulyango gw'okunaaba omusaayi, Ekyo kitegeeza nti tafuna wuzu ku swala elina ekiseera ekyeyawulidde okuleka nga ekiseera kyayo kimaze kutuuka. Naye ate eswala bweba telina kiseera kyeyawulidde, awo afuna wuzu wonna wayagalira okusaala.

Eky'okubiri: Bwayagala okufuna wuzu alina okunaaba najjawo obuufu bw'omusaayi, era nasiba ku bwereere bwe akawero ka kotoni kabeera nga kaziyiza omusaayi;

لِقَوْلِ النَّبِيِّ صَلَّى اللَّهُ عَلَيْهِ وَسَلَّمَ لِحَمْنَةَ: «أَنْعَتُ لَكِ الْكُرْسُفَ فَإِنَّهُ يُذْهِبُ الدَّمَ». قَالَتْ: فَإِنَّهُ أَكْثَرُ مِنْ ذَلِكَ. قَالَ: «فَاتَّخِذِي ثَوْبًا». قَالَتْ: هُوَ أَكْثَرُ مِنْ ذَلِكَ. قَالَ: «فَتَلَجَّمِي». الْحَدِيثُ.

Kulw'ekigambo kya Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye eri Hamna: «Nkulagirila era nkutendera akawero mazima kko kaziyiza omusaayi ». n'agamba Hamna: mazima gwo gusiingako awo [obungi namanyi}] awo Nabbi nagamba: tekayo olugoye» n'amugamba era, n'agamba(Nabbi):«wefunge » gusingako awo. Mpaka hadith jekoma, Era tekimukosa ekyo kyonna ekiba kivuddeyo oluvannyuma; kulw'ekigmbo kya Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye eri fatuma binti abi hubaish:

«اجْتَنِبِي الصَّلَاةَ أَيَّامَ حَيْضِكِ، ثُمَّ اغْتَسِلِي وَتَوَضَّئِي لِكُلِّ صَلَاةٍ، ثُمَّ صَلِّي، وَإِنْ قَطَرَ الدَّمُ عَلَى الْحَصِيرِ». [رَوَاهُ أَحْمَدُ وَابْنُ مَاجَهْ].

« Lekayo okusaala mu kaseera ka haidhwi yo, oluvannyuma onaabe era ofune wuzu buli swala, oluvannyuma osaale, nebwegutonnya omusaayi ku mukeeka» [yayogerwa Ahmad ne ibn maja].

Ely'okusatu: Okwegatta, abamanyi bayawukana ku kukkiriza kwakwo bwetuba tetutidde bwenzi mu kukuleka, n'ekituufu nti kikkirizibwa; kubanga abakyala bangi, bawera ekkumi oba okusingawo ku mulembe gwa Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye balwalako ekikulukuto, era nataziyiza Allah wadde omubaka okwegatta nabo, Nemukigambo kya Allah omusukkulumu:[temubasemberera okutuusa lwe batukula} [Al- baqara:222], bujulizi obulaga nti tekikakata kubesamba (abakyaala) abatali mu yyo(haidhwi); nga bwekiri nti era esswala yyo ekirizibwa waba ajisadde nabwekityo okwegatta tekiriimu buzibu, era n'okugerageranya okwegatta naye n'okwegatta n'ali mu nsonga ssi kituufu; kubanga embeera zombi tezifaanagana n'eri abo abagamba nti tekikkirizibwa, era ssi kituufu kugerageranya bitafaanagana.

Ennyingo eyomukaaga: Omusaayi gw'ekizadde n'ennamula ya gwo

Nifaasi: musaayi ogufuluma munnabaana olw'okuzaala, mu kiseera ky'okuzaala oba oluvannyuma lwa kwo oba nga wabula ennaku bbiri oba ssatu omukyala azaale gujja wamu n'ebisa.

Yagamba sheikh w’obusiraamu Ibun tayimiyyah: « Omusaayi oguva mu mukyala mu kaseera nga alumwa ebisa aba nifaasi» era natakikomeka na nnaku bbiri oba ssatu, era ne kyategeeza: n'ebisa ebigobererwako okuzaala bwekitaba ekyo oyo taba nifaasi. abamanyi bayawukana nti kirina ekkomo mu butono oba obungi bwakyo?. Yagamba sheikh ibn taymiyya mu bubaka bwe ku mannya Allah geyateekako amateeka, ku page:37 (lino linya lya kitabo) : « Nifaasi teriiko bbanga ggere ttono oba ddene, katugeze nti omukyala avaamu omusaayi ennaku ezisukka mu makumi ana oba nkaaga oba nsaavu oluvannyuma negulekeraawo, omusaayi guno eba nifaasi, naye tugeze nti omusaayi gugeenze mumaaso n'okumuvaamu ogwo guba omusaayi omufu, awo tubala ennaku amakumi ana(40) nga zezannifaasi kuba lyebbanga abakyaala abasinga lyebakomako era eryajja mu bujulizi» biweddeyo.

agamba omuwandiisi: n'olwekyo singa omusaayi guyisa mu nnaku makumi ana, nga alina embeera wegutera okulekeleraawo okujja [eky'okulabirako nga tusinziira kumbeera eziyise nga embuto ezaakulemebera], oba nga waliwo obubonero obulaga nti gunaatera okulekeraawo, awo alindako okutuusa nga omusaayi gulekedde awo ekitali ekyo anaaba nga ennaku makumi ana gaweze; kubanga lyebbanga abakyala lyebatela okumala mu nifaasi, singa ennaku makumi ana gaggwaako ate nagenderawo mu haidhwi awo tubala ebbanga lyamala mu haidhwi, bwegusirika eyo yefuuka embeera ye gy'abalirako mu biseera ebijja, naye ate bwegugenda mu maaso n'okujja awo kiba kikulukuto era amateeka g'ekikulukuto agayise ge gamukolako, singa nifaasi erekeraawo okujja nga ennaku makumi ana tegannawera, anaaba n'asaala era n'asiiba era ne bbawe akkirizibwa okwegatta naye, kubanga aba atukudde, okujjaka nga atukkudde mubbanga eritaweza lunaku nga yakazaala awo tetululamulirako, ebyo biri mukitabo Al-mughuni.

Era tabalibwa nti nifaasi okuleka nga omukyala avuddemu omuntu amaze okutonda, singa avaamu olubuto oluto olutannatonda omusaayi ogwo teguba gwa nifaasi wabula guba musaayi oguva mu misuwa era gulamulwa nti musaayi gwa kikulukuto, nga n'ennaku ezisiinga obutono omwana mwatondera ziba ennaku kinaana nga omukyala amaze okufuna olubuto, ate ezisiinga okuba ennyingi ziba ennaku kyenda.

Yagamba Almagiddi ibn taymiyya: Singa alaba nga tannalumwa bisa byakuzaala ekyo takifaako kuba tebalibwa nga nsonga, naye singa agulaba oluvannyuma lw'ebisa awo alekeraawo okusaala n'okusiiba, naye ate singa kyeyoleka ekyannyume kyekyo oluvannyuma [katugeze nga olubuto oluvuddemu telunnatonda awo aba aliwa eswala n'okusiiba era ate bwekiteeyoleka agenda mu maaso n'okulamula okw'okungulu nataliwa.ebigambo ebyo biri mukitabo Al-iqna-e.

Amateeka ga nifaasi:

Amateeka ga nifaasi gegamu naga haidhwi, awatali njawulo, okujjako mu bino wammanga:

Ekisooka: idda terina kakwate na nifaasi wabula idda ekwatagana na talaka; kubanga singa omukyala aweebwa talaka nga tannazaala, idda ye eggwako nakuzaala so ssi na nifaasi, naye ate bwaweebwa talaka oluvannyuma lw'okuzaala alinda mpaka lwaddamu okugenda mu haidhwi nga bwekyannyonnyoddwa.

Eky'okubiri: Ebbanga lya ila-e (okulayira obutaddayo kwegatta na mukyala wo) ebbanga eryo litwaliramu ekiseera kya haidhwi naye ate telitwaliramu kiseera kya kikulukuto.

Ne ila-a: kitegeeza omusajja okulayira obutaddayo kwegatta na mukyala we oluberera oba ebbanga eggere erisukka emyeezi ena, walayira oluvannyuma omukyala n'asaba okwegatta okuva eri bbawe, ate omusajja n'alayira obuteegatta awo tubala ebbanga lya myezi ena okutandikira kulunaku lwalayidde kasita jiggwaako aba ateekwa okwegatta ne mukyala we oba sikkyo omukyala asaba babawukanye, singa omukyana afuna nifaasi mu bbanga eryo teribalibwa mu myezi ena, era ennaku zamala mu nifaasi zigattibwa ku myezi ena olwo ebbanga neryongerwamu, naye ate singa afuna haidhwi yyo ebalibwa mu bbanga eryo.

Ery'okusatu: Okukula kubaawo nakugenda mu haidhwi [ekitali ku nifaasi]; kubanga omukyala tasobola kufuna lubuto okutuuka nga atuuse okuvaamu amazzi agazaala, nekiba nti okukula kubaawo nakuvaamu mazzi agazaala agasobozesa omukyala okufuna olubuto.

Ely'okuna: nti omusaayi gwa haidhwi singa gusirika oluvannyuma neguddamu ebiseera ebisiinga kiba kikakafu nti aba haidhwi, ekyokulabirako kwekuba nti omukyala mu mbeera ye amalamu ennaku munaana, nalaba haidhwi ennaku nnya, oluvannyuma omusaayi negusirika okumala ennaku bbiri, oluvannyuma neguddamu kulwomusanvu n'olwomunaana, ennaku zegukomyeewo kikakafu nti eba haidhwi era amateeka ga haidhwi gakola munnaku ezo, naye ate ggwo omusaayi gwa nifaasi bwegusirika nga ennaku ana tezinnawera oluvannyuma neguddamu kulw'amakumi ana, guba gubuusibwabuusibwa, awo kikakata ku mukyala okusaala n'okusiiba okwetteeka, era aziyizibwaako byonna ebiziyizibwa ku oyo ali mu haidhwi okujjako ebikolwa ebyetteeka, era aliwa nga amaze okutukula ebyo byonna ebikakata kuwa haidhwi okuliwa. era ekyo kyekyayatiikirira mu mazihibu ga hambali,

N'ekituufu nti omusaayi bwe guddamu negujja mu kiseera wegusobolera okubeera nifaasi eba nifaasi, ekitali ekyo eba haidhwi okujjako nga gugenze mu maaso n'okumuvaamu awo kibeera kikulukuto.

n'ekyo kiri okumpi n'ekyo ekyajja mukitabo Al-mughni okuva ku imaam maliki Allah amusaasire nti yagamba: « Omukyala bwalaba omusaayi oluvannyma lw'ennaku bbiri oba ssatu-nga gumaze okusirikamu- eba nifaasi ekitali ekyo eba haidhwi » era ekyo kyeyalondako sheikh Al-islam ibn taymiyya Allah amusaasire.

Mu mazima, tewali kibusibwabuusibwa ku musaayi, naye okubusabuusa kunsinziira ku kumanya kw'abantu n'entegeera zaabwe, kyo ekitabo Quran ne Sunna birimu obunyonnyofu kubuli kimu, era Allah teyalaalika ku muntu kusiiba mirundi ebiri, oba kwetoloola mirundi ebiri okuleka nga ogusooka gulimu ebitali bituufu ebitasobola kuteerezebwa okuleka nga azzeemu buto naliwa, naye omuntu okukola omulimu nga asinziira ku busobozi bwe yye aba yeggyeredde,

Nga Allah omusukkulumu bweyagamba:

﴿لَا يُكَلِّفُ ٱللَّهُ نَفۡسًا إِلَّا وُسۡعَهَا...

{Katonda Tawaliriza mwoyo wabula ekyo kye gusobola}. [Al-baqara:286].

Era nagamba:

﴿فَٱتَّقُواْ ٱللَّهَ مَا ٱسۡتَطَعۡتُمۡ...

{Kale mutye Katonda ekyo kye muba musobodde} [Al-taghaabun:16].

Enjawulo eyokutaano wakati wa haidhwi ne nifaasi: nti omukyala ali mu haidhwi bwatukula nga ebbanga lye lyamanyidde terinnatuuka, bbawe akkirizibwa okwegatta naye awatali buzibu (oba okutamwa) bwonna, naye ate omukyala ali mu nifaasi bwatukula nga ennaku ana tezinnatuuka kitamwa eri bbawe okwegatta naye okunsiziira ku kigambo ekyatiikirivu mu mazihibu ga hambali, naye ekitufu kiri nti tekitamwa, Era nga ky'ekigambo ky'abamanyi abasiinga obungi; kubanga okulamula ku kintu nti kitamwa kuba kulamula kwa mu ddini okwetagisa obujulizi okuva mu ddini, Ate ensonga eno teriiko bujulizi okuleka ekigambo kya imaam Ahmad nga akijja ku uthman ibn abi al-aswi nti mukyala we yamujjira nga enaku ana tezinnaggwaako, namugamba: tonseemberera. Ekyo tekitegeeza nti yakikola mu kutamwa; kubanga kisoboka nti yakikola mu mbeera yakweriinda butagwa mu nsobi kubanga omukyala yali tanneekakasa nti atukudde, oba omusaayi okuddamu singa yegatta, oba ensonga endala. ne Allah yasiinga okumanya

Ennyingo ey'omusaanvu: Okukozesa ebiziyiza haidhwi oba ebimuleeta, n'ebiziyiza okufuna olubuto oba ebirujjamu.

Omukyala okukozesa ebiziyiza okugenda mu haidhwi kikkirizibwa n'obukwakkulizo bubiri:

Akasooka: Singa tatya kufuna buzibu, singa atya okutuukako obuzibu awo kiba tekikkirizibwa;

kulw'ekigambo kya Allah omusukkulumu:

﴿...وَلَا تُلۡقُواْ بِأَيۡدِيكُمۡ إِلَى ٱلتَّهۡلُكَةِ...

{Temwesuulanga mmwe mwennyini mu kuzikirira} [Al-baqara:195].

﴿...وَلَا تَقۡتُلُوٓاْ أَنفُسَكُمۡۚ إِنَّ ٱللَّهَ كَانَ بِكُمۡ رَحِيمٗا

{Temwetemulanga. Mazima Katonda bulijjo waakisa ku mmwe} [Al-nisaa:29].

Ak'okubiri:Okuba nga bbawe amukkirizza, singa okuzikozesa kwe kuyina akakwaate n'omusajja era nga ku mukosa, nga okuba nti omukyala ali mu idda olw'okuweebwa talaqa nga omusajja kimukakatako okumuliisa n'okumulabirira, omukyala nakozesa empeke eziziyiza okugenda mu haidhwi ebbanga lya idda ly'eyongereko; era okumulabirira kw'eyongereko awo aba takkirizibwa kuzikozesa okujjako nga omusajja amukkirizza, Nabwekityo singa kikakasibwa nti okuziyiza okugenda mu nsonga kigaana omukyala okufuna olubuto awo omukyala aba ayina ku sooka kufuna lukusa okuva ewa bbawe, ekisiinga obulungi butakozesa bintu ebyo okuleka nga waliwo obwetaavu obwamaanyi, kubanga okuleka obutonde nga bwebuli kyekisiinga okukuuma obulamu n'emirembe gy'omukyala.

Era n'okukozesa ebireeta haidhwi kikkirizibwa n'obukwakkulizo bubiri :

Akasooka: Okuba nga tekikolebwa lwa lukwesikweesi, akikozese nga ekisonyiyisa okukola egimu ku mirimu egimukakatako, ekyokulabirako nga okukozesa empeke ezo nga ramazani eri kumpi asobole obutasiiba oba obutasaala n'ebirala.

Ak'okubiri: Okufuna olukusa okuva eri bbawe; lwa nsonga nti okugenda mu nsonga ku muziyiza okwegatta ne mukyala we mu bujjuvu, tekikkirizibwa kukozesa kiremesa kwegatta na mukyala we okujjako nga omusajja akkirizza, nebwaba nga yaweereddwa talaqa, lwansonga nti mubaamu okwanguyiriza okujjawo olukusa lw'omusajja okuzza mukyala we nga idda tennaggwako bwaba akkirizibwa okumuzza.

Wabula okukozesa ebiziyiza okufuna olubuto birimu embeera bbiri:

Esooka: okumuziyiza obutaddamu kufuna lubuto ekyo tekikkirizibwa; lwansonga kijjawo okufuna olubuto okuzaala nekukendeera, ate nga ekyo kyawukana n'ekigendererwa kya Allah, oky'okuyinjiwaza omuweendo gw'abasiraamu; era omukyala ayinza okufiirwa abaana be bonna nasigala nga talina baana nga ate amaze okw'ekomya okuzaala.

Eyokubiri: Okumuziyiza okuzaala okumala ekiseera ekigere, nga okuba nti omukyala embuto azifunira kumu kumu, era nezimukaluubiriza, neyeetaaga okuteekawo akabaanga ka myaaka ebiri ebiri oba ekiringa ekyo, kikkirizibwa kasita afuna olukusa okuva eri bbawe, n'okuba nti taafune buzibu ku bulamu bwe, N'obujulizi kw'ekyo nti ba swahaaba baliinga bakuuma enkwaso zaabwe eri bakyala babwe baleme kufuna mbuto, nekitabagaanibwa, n'okukuuma enkwaso kwekuziyiza enkwaso okuyingira mu bwereere bw'omukyala mu kiseera ky'okwegatta n'oziyiwa wabweeru w'obwereere.

Wabula okukozesa ebijjamu olubuto birimu embeera bbiri:

Esooka: Okuba nti ageendereramu kw'onoona ekyo ekiri mu lubuto, singa ekyo kibaawo nga omwoyo gufuyiddwaamu kiba tekikkirizibwa, awatali ku busabuusa, kubanga okwo kuba kutta mwoyo ogutakkirizibwa kuttibwa, ate nga okutta omuntu mu butali butuufu tekikkirizibwa mu Quran ne sunna n'okwegatta kw'abasiraamu, Singa kibaawo nga omwoyo tegunnafuyibwaamu abamanyi bayina ebigambo eby'enjawulo kw'ekyo, mulimu abagaamba nti kikkirizibwa, ne mubaamu n'abagamba nti tekikkirizibwa, n'abagamba nti kikkirizibwa singa tekiba kisaayisaayi ekitegeeza nti bwekiba tekinnaweza nnaku makumi ana, era mulimu abagamba nti kikkirizibwa singa omwana aba tannatondebwa.

N'ekisiinga okuba ekirungi bwebutajjaamu lubuto okuleka nga waliwo ensonga eyamaanyi nga omukyala okuba nti mulwadde nga tasobola kuwanirira lubuto oba ekyefanaanyirza ekyo, mu kaseera ako aba akkirizibwa okujjamu olubuto okuleka nga omwana amaze okutondwa awo aba takkirizibwa. Allah yasinga okumanya.

Ey'okubiri: Okuba nti ekigendererwa kye mu kujjamu olubuto sikutta mwana. singa olubuto agezaako okujjamu olubuto nga ebbanga liweddeyo era nga assemberedde okuzaala ekyo kikkirizibwa, kasita watabaawo bulabe butuuka ku mukyala wadde omwana, n'okuba nti tewali bwetaavu bwakumulongoosa, singa wabaawo obwetaavu bw'okumulongoosa ekyo kirimu embeera nnya(4):

Esooka: Okuba nti omukyala n'omwana bombi balamu, awo tekikkirizibwa ku mulongoosa okujjako nga waliwo ensoonga eteebereka, nga okuba nti afunye obuzibu mu kuzaala nga ayina ku longosebwa, lwansonga nti omubiri kitereso eri omuddu, kyatasaanidde kuteeka mu bulabe okujjako nga waliwo obwetaavu obunene; ate era ayinza okusuubira nti taafune buzibu mu kulongoosebwa nafuna obuzibu.

Eyokubiri: Okuba nti maama n'omwana bombi bafu, awo tekikkirizibwa ku mulongoosa kujjamu mwana kuba tewaba mugaso.

Ey'okusatu: Kwekuba nti maama mulamu ate omwana mufu, awo kikkirizibwa okumulongoosa bajjemu omwana, okujjako nga waliwo okutya nti omukyala ayinza okufuna obuzibu; kubanga ekyeyolefu era Allah yasiinga okumanya nti omwana bwafiira munda aba tasobola kufuluma okuleka nga alongooseddwaamu, omwana okusigala mu lubuto kilemesa omukyala okuddamu okuzaala, era kimukosa, era oba oli awo kisobola okukuumira omukyala mu bwannamwaandu [obutasobola kufumbilwa] singa aba ali mu idda y'oyo abadde bbawe.

Eyokuna: Kwekuba nti maama mufu nga omwana mulamu, singa tewabaawo ssuubi ly'amwana kulama tekikkirizibwa ku mulongosa.

Naye ate singa kisuubirwa omwana okulama, singa aba afulumyeeko ekitundu awo alongoosebwa bajjeyo ekisigaddeyo, ate ku ludda olulala singa tewabaawo kifulumye bannaffe mu mazihibu ga imaam Ahmad bagamba: talongoosebwa kujjamu mwana kubanga okwo kuba kusalaasala muntu, ekituufu kiri nti alongoosebwa singa omwana tasobola kufuluma okujjako nga alongooseddwaamu, Era ekyo kyeyalonda Ibn Abi hubaira mu kitabo ekiyitibwa Al-inswaafu: era ky'ekisiinga.

Omuwandisi agamba: okusiingira ddala mu kiseera kino, okulongoosa tekuba kusalaasala muntu, wabula kiba nti basala olubuto bulungi era ne bamutunga, ate n'olwensonga nti okutaasa omuntu omulamu kyekisinga okukuuma ekitiibwa ky'omufu; ate era okutaasa oyo atayina kyonoono kyonna kyatteeka, ate nga omwana ali mu lubuto aba tayina musango nekiba nti kyatteeka okumutaasa. Allah yasinga okumanya.

Kino kikulu: Embeera zonna ezikulembedde,ezikkiribwamu omukyala okujjamu olubuto bateekeddwa okufuna olukusa okuva eri nannyini lubuto nga naye ye bba w'omukyala.

Biweddeyo byetwagadde okuwandiika ku mulamwa guno omukulu, era mu bufunze twogedde ku miramwa emikulu n'amateeka g'agyo newankubadde nga obutuundu n'ensonga nyingi ezikwata ku mukyala, ziringa ennyanja etarina lukalu, Naye ate alabira ewala asobola okugerageranya obutuundu, kumiramwa emikulu n'ebitono ku binene n'okukwanaganya ebintu ku bibifaanana asobole okufuna okulamula okwawamu.

Era ne Mufti ( alina okumanya mu ddini) ateekeddwa okumanya nti yye lwelujegere oluli wakati wa Allah n'abantu mu kutuusa ebyo ababaka byebajja nabyo, n'okubinyonnyola abantu, era [amanye] nti atteekeddwa ku kozesa ebyo ebiri mu kitabo Quran ne sunna , kubanga bbyo byokka byebyetteeka ku muddu okubitegeera, n'okubikolerako, Era ekyo kyonna ekyawukana ne Quran ne Sunna kiba kikyaamu, ekiteekeddwa okuddizibwaayo eri nnyini kukyogera , era tekikkirizibwa ku kikolerako, bwaba akyogedde nga mu nyiikivu nga alina okumanya mu ddini Allah amusonyiwa era namuwa empeera olw'okunyiikira kwe naye ate oyo akakasa nti okunyiikira kwe ku nsonga kufu oyo tekikkirizibwa kukkiriza kigambo kye.

Era ki kakata ku mufti okulongoosa okumalirira kwe nga akola ku lwa Allah yekka, era asabe Allah obuyambi ku buli nsonga, era amusabe okunweera n'okumuluŋŋamya eri ekituufu.

Era ki kakata ku yye okutwaala ebyo ebiri mu kitabo Quran ne Sunna z'omubaka Muhammad okusaasira n'emirembe bibeere ku yye, era n'okutunula n'okunoonyereza mu bbyo, era yeyambise okunyonnyola kw'abo abamanyi ku bbyo byombi.

Era ebiseera bingi ensonga egwaawo, omuntu naginoonyerezaako nga bwasobola mu bigambo by'abamanyi, oluvannyuma natafuna kulamula kutebenkeza mutima gwe, Omuntu bwadda eri Quran ne Sunna z'omubaka ku mweyolekera okulamula kwabyombiriri mu bwangu ddala. okusinziira ku kigendererwa kye n'okumanya kwe n'okutegeera kwe atuuka ku kulamula okulambulukufu.

Era kyatteeka ku mufti okuba omukwata mpola ku nsonga ezeetagisa okwetegereza, era aleme kupapa, bameka abanguyiriza okulamula, oluvannyuma lw'okwetegereza nekimweyolekera nti yakoze ensobi, neyejjusa olwekyo, nga ate oluusi aba takyaasobola kuzza mabega ekyo kyeyalamudde!.

Era abantu bwebamanya ku mufti obukwata mpola n'okwetegereza bamwesiga era ne batwaala ebigambo bye, naye ate bwebamulaba nga ayanguyiriza, n'omuntu ayanguyiriza akola ensobi nnyingi, era abantu tebeekakasa ebyo by'alamula , naba nti okwanguyiriza kwe n'ensobi zaakola zimulemesa yye nabalala okufuna okumanya n'okumanya ekituufu.

Tusaba Allah omusukkulumu atuluŋŋamye nebaganda baffe abasiraamu eri ekkubo eggolokofu, era atuwe obukuumi bwe, era atwewaze atukuume obutaseerera, mazima yye mugabi; Nsaba Allah asse okusaasira n’emirembe ku Nabbi we Muhammad (s.a.w) n’abantu b’enyumba ye ne ba Swahaaba be bonna, amatendo ga Allah oyo olwebyengera bye bijjula ebirungi.

byawandiikibwa omwetaavu eri Allah

Muhammad Alswaleh Al-uthaimeen

nga enjuba evuddeyo olunaku olwejjuma

14 shabaan omwaka 1392hijri

 

 

***

الفهرس

 

Omutwe ogusooka: Amakulu ga haidhwi (okugenda mu nsonga) n'ekigendererwa mu kyo 5

Omutwe ogw'okubiri: Ekiseera kya haidhwi n'ebbanga lya yo. 7

Ennyingo eyokusatu: ebigwa bitalaze mu haidhwi 18

Ennyingo eyokuna: Amateeka ga Haidhwi. 24

Ennyingo eyokutaano: ekikulukuto (ekyalaalo) n'amateeka gakyo. 46

Ennyingo eyomukaaga: Omusaayi gw'ekizadde n'ennamula ya gwo 56

Ennyingo ey'omusaanvu: Okukozesa ebiziyiza haidhwi oba ebimuleeta, n'ebiziyiza okufuna olubuto oba ebirujjamu. 63

***

 

lg130v1.0 - 19/07/2026


Amakulu nti tebagalabanga nga haidhwi wegajjaanga nga bamalirizza okutukula

Olw'amaanyi ga Qur’an ne hadiith z'omubaka n'olw'obunafu bwe bisigadde.