الدُّرُوسُ المُهِمَّةُ لِعَامَّةِ الأُمَّةِ
Eby'okuyiga ebikulu eri abantu bonna
لِسَمَاحَةِ الشَّيْخِ العَلَّامَةِ
عَبْدِ العَزِيزِ بْنِ عَبْدِ اللهِ بْنِ بَازٍ
رَحِمَهُ اللهُ
Eby'owekitiibwa Shekh Omumanyi
Abdul Aziiz Ibun Abdullahi Ibun Baaz -Katonda amusaasire -
بِسْمِ اللهِ الرَّحمَنِ الرَّحِيمِ
Eby'okuyiga ebikulu eri abantu bonna
Eby'owekitiibwa Shekh Omumanyi
Abdul Aziiz Ibun Abdullahi Ibun Baaz -Katonda amusaasire -
BismiLlahi Rrahmaani Rrahiim
(Nsoose n'erinnya lya Allah omusaasizi ennyo ow'ekisa ekingi)
Enyanjula y'Omuwandiisi
Amatendo amalungi ga Katonda, n'enkomerero ennungi y'abo abamutya, n'ebyengera n'emirembe bibeere ku mubaka we Nabbi waffe Muhammad, ne ku bantu be ne baswahaaba be bonna.
Oluvannyuma lw'ebyo :
Bino bigambo bifunze funze, ebinnyonnyola ebimu ku bantu bonna bye balina okumanya ku ddiini y’Obusiraamu. Nakituuma: (Ebyokuyiga Ebikulu eri Abantu bonna).
Era nsaba Katonda agase nabyo abasiraamu, era akikkirize okuva gyendi, Mazima ye mugabi.
Abdul Aziiz Ibun Abdullah Ibun Baaz Eby'okuyiga ebikulu eri abantu bonna1
Eky'okuyiga ekisooka: suurat Al-faatiha n'esuura enyiimpiimpi
Suurat Al-faatiha n'ezo eziba zisobose mu suula enyimpiimpi, okuva ku Suurat Az-Zalzalah okutuuka ku Suurat An-Naas, okuzaatuza n'okutereeza ensoma, n'okuzikwaata, n'okunnyonyola ebikakata okutegeerebwa.
Eky'okuyiga eky'okubiri : Empagi z'obusiraamu
Okunnyonnyola Empagi z'obusiraamu ettaano, era (n'empaji) esooka era ekyasinze obukulu : Okukakasa nti tewali asinzibwa mubutuufu okuggyako Katonda era mazima Muhammadi Mubaka wa Katonda awamu n'okunnyonnyola amakulu ga byo, ssaako okunnyonnyola obukwakkulizo bwa Laa Ilaha Illa Allah, n'amakulu g'ekigambo ekyo: (Laa Ilaha) kugaana byonna ebisinzibwa mu kifo kya Katonda, (Illa Allah) kukakasa nti asaanidde okusinzibwa ye Katonda yekka teri kimwegattako. Ate obukwakkulizo bwa (Laa Ilaha Illa Allah) bwe buno: okumanya okujjawo obutamanya, n'okukakasa okujjawo okubuusabuusa, okutongoza Katonda okujjawo okumugattako, n'amazima agajjawo obulimba, n'okwagala okujjawo obukyayi, n'okugonda okujjawo Okugatta ku Katonda n'okukkiriza okujjawo okugaana n'obutakkiriza byonna ebisinzibwa mu kifo kya Katonda. Era bwakunganyizibwa mu nnyiriri zino ebbiri ezijja :
Kumanya, kukakasa n'okukola ku lwa Katonda n'amazima go awamu..... n'okwagala n'okugonda n'okukkiriza Ne kwongerwako eky'omunaana nga bwe butakkiriza bwo ebyo... Ebitali Katonda mu bintu ebisinzibwa
Awamu n'okukakasa nti Muhammad Mubaka wa Katonda, ne kyekitegeeza: kwe kumukakakasa mw'ebyo byeyagamba n'okumugondera mw'ebyo bye yalagira n'okwewala ebyo byeyagaana, n'obutasinza Katonda okuggyako kunkola Katonda n'omubaka we okusaasira n'emirembe bibeere ku yye gye baalagira. Oluvannyuma n'annyonnyola omuyizi ezibulayo mu mpagi z'obusiraamu ettaano, era ze zino : Swala, Zaka, okusiiba omwezi gwa Ramadan n'okulambula ennyumba ya Allah ey'emizizo eri oyo osobodde.
Eky'okuyiga eky'okusatu: Empagi z'obukkiriza
Era ziri mukaaga: kwe kukkiriza Katonda ne ba Malayika be n'ebitabo bye n'ababaka be n'olunaku lw'enkomerero n'okukkiriza okugera okulungi n'okubi kwonna kuva eri Mukama Katonda omugulumivu.
Eky'okuyiga eky'okuna: Emiteeko gy'okutongoza Katonda n'emiteeko gy'okumugattako
Okunnyonnyola emiteeko gy'okutongoza Katonda, era giri esatu: okutongoza Katonda mubikolwabye (nti ye mulezi), okutongoza Katonda mu kumusinza, n'okumwawula mu mannya ge n'ebitendo bye.
1-Okwawula Katonda n'ebikolwa bye: Era kwe kukkiriza nti Katonda eyayawukana ye Mutonzi wa buli kintu kyonna era nga y'addukanya buli kintu, teriiyo kimwegattako mw'ebyo.
Okwawula Katonda mu kumusinza: Kwe kukkiriza nti Katonda eyayawukana y'asinzibwa mu butuufu teriiyo kimwegattako mw'ekyo, era ge makulu g'ekigambo Laa Ilaha Illa Allah, n'amakulu g'ekigambo ekyo: kitegeeza nti teri asinzibwa mubutuufu okuggyako Katonda, era emiteeko gy'okusinza gyonna nga eswala, okusiiba, n'ebirala kikakata bbikolera Katonda yekka, era tekikkirizibwa ku kyusiza kitali Katonda kintu kyonna mw'ebyo.
Okutongoza Katonda mu mannya n'ebitendo: kwe kukkiriza byonna ebyajja mu Quran ey'ekitiibwa oba mu hadiithi z'omubaka entuufu mu mannya n'ebitendo, n'okubikakasa ku Katonda yekka mu ngeri emusaanira, nga temuli kukyusakyusa yadde okuwakanya, yadde okubuuza engeri ya byo, yadde okubifaanaanyiriza , nga tukolera ku kigambo kya Katonda eyayawukana :
﴿قُلۡ هُوَ ٱللَّهُ أَحَدٌ 1 ٱللَّهُ ٱلصَّمَدُ 2 لَمۡ يَلِدۡ وَلَمۡ يُولَدۡ 3 وَلَمۡ يَكُن لَّهُۥ كُفُوًا أَحَدُۢ٤﴾
(Gwe Nabbi Muhammad) bagambe nti Allah ali omu mu bwa Katonda lbwe (era nga yye yekka ateekeddwa okusinzibwa). (1)
Katonda y'akola ku byetaago by'ebitonde byonna. (2)
Tazaala ate teyazaalibwa {3}
(Era teri kintu kyonna kimwenkana.) [Surat Al-Ikhlaasw: 1-4] n'ekigambo kye -ow'amaanyi era ow'ekitiibwa-
﴿...لَيۡسَ كَمِثۡلِهِۦ شَيۡءٞۖ وَهُوَ ٱلسَّمِيعُ ٱلۡبَصِيرُ﴾
﴾Tewali kintu kyonna kiringa Yye, era Yye y'awulira ennyo Omulabi ennyo.﴿ [Ash-Shuura: 11] , N'abamanyi abamu baatekulula okutongoza Katonda mu miteeko ebiri, era nga baayingiza okutongokeza Katonda amannya ge n'ebitendo bye mu kumutongoza n'ebikolwa bye, era n'ekyo tekirina buzibu; kubanga ekigendererwa mu nteekulula zino ebbiri nneeyolefu.
N'emiteeko gy'okugatta ku Katonda giri esatu: shiriki omunene, shiriki omutono ne shiriki omwekwefu.
Ne shiriki omunene: ayonoona emirimu gy'omuddu era yenna afa nga agatta ku Katonda wa kubeera mu muliro lubeerera, nga Katonda ow'ekitiibwa bwe Yagamba:
﴿...وَلَوۡ أَشۡرَكُواْ لَحَبِطَ عَنۡهُم مَّا كَانُواْ يَعۡمَلُونَ﴾
{ Singa nga baagatta ku Katonda ekintu ekirala byandiboonoonekedde ebyo byonna bye baali bakola} [Al-An'aam: 88], Era Katonda eyayawukana yagamba:
﴿مَا كَانَ لِلۡمُشۡرِكِينَ أَن يَعۡمُرُواْ مَسَٰجِدَ ٱللَّهِ شَٰهِدِينَ عَلَىٰٓ أَنفُسِهِم بِٱلۡكُفۡرِۚ أُوْلَٰٓئِكَ حَبِطَتۡ أَعۡمَٰلُهُمۡ وَفِي ٱلنَّارِ هُمۡ خَٰلِدُونَ﴾
(Abagatta ku Katonda e bintu e birala tebakkirizibwa kuzimba mizikiti gya Katonda, nga nabo bennyini beewaako obujulizi nti bakaafiiri, abo e mirimu gya bwe gyonna mifu, era nga mu muliro mwe bagenda okutuula obugenderevu). [At-tauba 17], N'oyo alifiira ku kugatta ku Katonda tali musonyiwa, n'ejjana gy'ali eri haraamu, nga Katonda ow'ekitiibwa bwe Yagamba-:
﴿إِنَّ ٱللَّهَ لَا يَغۡفِرُ أَن يُشۡرَكَ بِهِۦ وَيَغۡفِرُ مَا دُونَ ذَٰلِكَ لِمَن يَشَآءُ...﴾
{Mazima Katonda tasonyiwa kumugattako naye asonyiwa ekitali ekyo eri oyo gw'aba ayagadde} [Surat Al-nisae: 48] , Era Katonda eyayawukana yagamba:
﴿...إِنَّهُۥ مَن يُشۡرِكۡ بِٱللَّهِ فَقَدۡ حَرَّمَ ٱللَّهُ عَلَيۡهِ ٱلۡجَنَّةَ وَمَأۡوَىٰهُ ٱلنَّارُۖ وَمَا لِلظَّٰلِمِينَ مِنۡ أَنصَارٖ﴾
{ Mazima omuntu yenna agatta ku Katonda n'ekintu ekirala dala Mazima Katonda yaziyiza kuye okuyingira Ejjana n'obuddo bwe muliro era tebalina abalyazaamaanyi mutaasa yenna} [Al-ma'idah 72].
Ne mubika by'okugatta ku Katonda: Mwe muli okusaba abafu, amasannamu,n'okubisaba obuyambi, n'okweyama gye biri, n'okusala ku lwa byo n'ebirala ebiri ng'ebyo .
Okugatta ku Katonda okutono: kwe kwayitibwa mu bujulizi okuva mu Quran ne hadiithi nti shiriki, wabula nga tekuli mu kika kya shiriki omunene, nga kabandabe mu mirimu egimu, n'okulayira ekitali Katonda, n'okugamba nti ekyo Katonda kyeyayagala ne gundi, n'ebirala; ku lw'ekigambo ky'omubaka okusaasira n'emirembe bibeere ku yye:-
"أَخْوَفُ مَا أَخَافُ عَلَيْكُمُ الشِّرْكُ الْأَصْغَرُ". فَسُئِلَ عَنْهُ، فَقَالَ: "الرِّيَاءُ"
"Kyensinga okubatiiririra (okutya gyemuli) ye shirk omutono, nabuuzibwa kuye nagamba nti: ye kabandabe"2 Esangibwa mukitabo kya Imaamu Ahmad ne Attabaraani ne Albaihaki, nga eva ku Mahmuudu mutabani wa Labiidi omu-answari Katonda amusiime - ne sanadi ennungi , n'esangibwa era mu kitabo kya Attabaraani ne sanadi ennungi nga eva ku Mahmuudu mutabani wa Labiidi nga naye yagijja ku Raafii mutabani wa Khudaiji nga eva ku Nnabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye.
N’ekigambo kye okusaasira n'emirembe bibeere ku yye-
"مَنْ حَلَفَ بِشَيْءٍ دُونَ اللَّهِ فَقَدْ أَشْرَكَ"
(Oyo yenna alayira ekitali Katonda aba akoze shiriki)3 Esangibwa mukitabo kya Imaamu Ahmad ne sanadi ennungi, nga eva ku Umar mutabanyi wa Al-khattabi -Katonda amusiime - Era esangibwa ne mu kitabo kya Abu Dauda, ne Tirimithi ne sanadi ennungi mu hadiithi ya Mutabani wa Umaru Katonda abasiime bombiriri, nga ku Nnabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye - mazima yye yagamba nti:
"مَن حَلَفَ بِغَيْرِ اللهِ فَقَدْ كَفَرَ أَوْ أَشْرَكَ"
(Yenna alayira ekitali Allah abeera akafuwadde oba aba agasse ku Allah ekintu ekirala) .4 N’ekigambo kye okusaasira n'emirembe bibeere ku yye-
"لا تَقُولُوا: ما شَاءَ اللهُ وَشَاءَ فُلانٌ، وَلَكِنْ قُولُوا: ما شَاءَ اللهُ ثُمَّ شَاءَ فُلانٌ."
"Temugamba nti: Ekyo Katonda kyeyayagala ne gundi n'ayagala, wabula mugamba nti: Ekyo Katonda kyeyayagala n'oluvannyuma gundi n'ayagala"5 Esangibwa mukitabo kya Abu Dauda ne sanadi ennungi, nga eva ku Huzaifa mutabani wa Alyamaani Katonda amusiime.
Era guno omuteeko tegukakasa ku muntu nti avudde mu busiraamu, yadde okubeera mu muliro lubeerera, wabula buggyawo obujjuvu bw'okutongoza Katonda okw'etteeka .
Omuteeko ogwo kusatu: Shiriki omwekwefu; n'obujulizi ku yye kye kigambo ky'omubaka okusaasira n'emirembe bibeere kuyye-:
"أَلَا أُخْبِرُكُمْ بِمَا هُوَ أَخْوَفُ عَلَيْكُمْ عِندِي مِنَ الْمَسِيحِ الدَّجَّالِ؟" قَالُوا: بَلَى يَا رَسُولَ الله، قَالَ: "الشِّرْكُ الخَفِيُّ، يَقُومُ الرَّجُلُ فَيُصَلِّي، فَيُزَيِّنُ صَلَاتَهُ لِمَا يَرَى مِنْ نَظَرِ الرَّجُلِ إِلَيْهِ"
( Abaffe mbabuulireyokko kyensinga obbatiisa n'okusinga Masiihi ddajjaali?) Nebamugamba tubuulire owaffe omubaka wa Katonda, yagamba nti: (Okugatta ku Katonda okwekusifu, ye muntu okuyimirira n'asaala n'alongoosa eswala ye ku lw'oyo amutunuulidde nga asaala}6 Yayogera Imaamu Ahmad mu kitabo kye Musnadi, nga eva ku Abu Sa-iid Al-Khuduriyy Katonda amusiime .
Era Kikkirizibwa okuteekulula Shiriki mu muteeko ebiri gyokka:
Omunene n'omutono, wabula omwekwefu azingiramu emiteeko gyombi; N'agwa mu shiriki omunene, nga shiriki wa bannanfuusi kubanga bakweka enzikiriza zaabwe ez'obulimba, ne beefuula abasiraamu nga baagala balabibwe n'okutya akabenje k'obutabeera basiraamu.
Era n'abeera mu shiriki omutono, nga kabandabe, nga bwekyajja mu hadiithi ya Mahmuudu mutabani wa Labiidi omu-answari eyakulembedde, ne hadiithi ya Abu Sa-iid eyogeddwa. Ne Katonda ye nannyini buwanguzi.
Eky'okuyiga eky'okutaano: Okulongoosa
Empagi y'okulongoosa: Kwe kusinza mukama Katonda ng'olinga amulaba, newankubadde tomulaba mazima yye akulaba.
Eky'okuyiga ky'omukaaga: obukwakkulizo bw'esswala
Era buli mwenda :
Obusiraamu, Amagezi, Okwawula, Okweggyako ekizuusi, Okuggyawo obucaafu, okubikka obwereere ، okuyingira wo kw'ekiseera, okwolekera qibula n'okumalirira .
Eky'okuyiga ky'omusanvu: Empagi z'esswala
Era ziri kkumi nannya :
Okuyimirira eri oyo asobola, Takibiira y'emizizo (nga yeggulawo eswala), okusoma Al-faatiha, okukutama, okugolokoka oluvannyuma lw'okukutama, okuvunnama ku biyungo omusanvu, okusituka okuva ku kuvunnama, okutuula wakati w'envunnama ebbiri, okutebenkera ku bikolwa byonna, okuliraanisa empagi, tahiyyaatu esembayo, okugituulira, okusaasira Nnabbi - okusaasira n'emirembe bibeere kuyye - okutoola salaamu ebbiri .
Eky'okuyiga eky'omunaana : oby'obwetteeka mu swala
Era biri munaana :
Takibiira zonna okuggyako Takibiira y'emizizo, Ekigambo (Sami' Allahu liman hamidah) eri Imaamu n'oyo asaala yekka, ekigambo (Rabbana wa lakal-hamdu) eri abasaala bonna, n'ekigambo (Subhaana Rabbiyal-a-ala) mu kuvunnama, n'ekigambo (Rabbighifirilii) wakati w'envunnama ebbiri, tahiyyaatu esooka n'okutuula nga ogireeta .
Eky'okuyiga eky'omwenda: Okunnyonnyola Attahuyyaatu
Era kwe kugamba :
(Ebiramuso ebirungi, n’okusaba okulungi, n’ebirungi byonna bya Allah, Emirembe gibeere ku ggwe Nabbi n’okusaasira kwa Allah n’emikisagye, emirembe gibeere kuffe ne ku baddu ba Allah abalongoofu, nkakasa nenjatula n’olulimi lwange nti tewali Katonda asinzibwa mu butuufu okuggyako Allah, era n’enkakasa nga njatula n’olulimi nti mazima ddala Muhammadi muddu wa Allah era mubaka we) .
Oluvannyuma n'asaalira Nabbi - okusaasira n'emirembe bibeere kuyye- n'amusabira emikisa nga agamba nti : (Allaahumma swalli alaa Muhammad wa alaa aali Muhammad, kamaa swallayta alaa Ibrahiima wa alaa aali Ibrahiima, innaka hamiidu mmajiid. Allahumma baarik alaa Muhammad wa alaa aali Muhammad, kamaa baarakta alaa Ibrahiima wa alaa aali Ibrahiima, innaka hamiidu mmajiid) .
Oluvannyuma ne yeekingiriza ne Katonda mu Attahuyyaatu esembayo ebibonyobonyo by'omuliro, n'ebibonyobonyo,by'etaana , n'ebikemo by'obulamu n'okufa, n'ebikemo bya Masiihi ddajjaali, oluvannyuma n'asaba edduwa z'ayagadde, naddala ezajja okuva mu bujulizi, mu zo mwe muli :
(Allahumma a-innii alaa thikirika wa shukurika wa husni Ibaadatika, Allahumma inii dhalamtu nafsii dhuluman kathiira wa laa yaghifiru dhunuuba illa anta faghifir-lii maghifiratan min indika war-hamnii innaka antal-Gafuuru Rrahiim) .
Wabula mu Attahuyyaatu esooka asituka oluvannyuma lwa shahaada ebbiri eri eraaka ey'okusatu mu zuhuri, Aswiri,Magaribi ne Isha, era bw'abo asaalidde ku Mubaka ky'ekisinga obulungi; olw'okubuna kwa Hadiithi ezoogera kw'ekyo, oluvannyuma n'ayimuka eri laaka ey'okusatu .
Eky'okuyiga eky'ekkumi: Ebya sunna mu swala
Mu byo :
Edduwa eggulawo esswala .
Okuteeka ekibatu ky'omukono gwa ddyo ku gwa kkono waggulu w'ekifuba nga oyimiridde, oluberyeberye lw'okukutama n'oluvannyuma lwa kwo.
3- Okusitula emikono ng'engalo ozigasse okutuuka ku kigero ky'ebibegaabega oba amatu ng'oleeta Takibiira esooka, ne w'oba ovunnama, n'okusituka okuva ku kuvunnama, ne ng'osituka okuva ku tahiyyaatu esooka okudda ku laaka ey'okusatu .
Ekyeyongera ku tasbiihi emu mu kukutama ne mukuvunnama.
5- Ebyeyongera ku kigambo (Rabbanaa wa lakal-hamdu) nga oyimuse okuva ku maviivi, n'emirundi egyoyongera ku gumu mukugamba ekigambo "Rabbi ighifirlii" wakati w'envunnama ebbiri .
6- Okuteeka omutwe mu layini y'omugongo mu kukutama .
7- Okwawula emikono ku mbiriizi, n'olubuto ku bisambi, n'ebisambi ku ntumbwe mu kiseera ky'okuvunnama .
8- Okusitula emikono okuva ku ttaka ng’ovunnamye .
9- Omusaaze okutuulira ku kugulu kwe okwa kkono n'okusimba okwa ddyo mu tashahhudi esooka ne wakati w'envunnama ebbiri .
10- Okutuulira ku butuuliro mu tashahhudi esembayo mu swala ey'eraaka ennya oba essatu, nga kwe kutuulira ku butuuliro awamu n'okuteeka okugulu kwa kkono wansi w'okwa ddyo n'okusimba ekigere kya ddyo .
11- Okusonga n’olugalo olw’omukono mu kiseera kya Tashahhud esooka n’eyokubiri okuva omuntu lw’atuula okutuuka ku nkomerero ya Tashahhud, n’okulunyeenya mu kiseera ky'okusaba .
12- Okusaalira Muhammadi n'okumusabira emikisa n'abantu ba Muhammadi, ne Ibrahiim n'abantu ba Ibrahiim mu tashahhudi esooka .
13- Okusaba mu tashahhudi esembayo.
14- Okusoma mu ddoboozi ery’omwanguka mu swala ya Fajr, esswala ya Juma, eswala ya Iddi, esswala ya Istisqa (esswala esaalibwa nga tusaba Allah enkuba), ne mu raaka ebbiri ezisooka mu swala ya Maghrib ne Isha .
15- Okusoma mu kyama mu swala ya zuhuri, Aswiri, mu raaka ey'okusatu mu swala ya Magaribi, n'eraaka ebbiri ezisembayo mu swala ya Isha .
16- Okusoma ebyeyongera ku Al-faatiha nga biva mu Quran, awamu n'okufaayo ku sunna endala mu sunna z'eswala ezitali ezo ze twogeddeko, era mu zzo mwe muli ebyeyongera ku kigambo ky'omusaaze: (Rabbanaa wa lakal-hamdu) Oluvannyuma lw'okusituka okuva ku kukutaama eri Imaamu, gw'akulembera n'oyo asaala yekka, kubanga kya mu sunna, era mu byo mwe muli: Okuteeka emikono ku maviivi nga oyawudde wakati w'engalo mu kaseera k'okukutama .
Eky'okuyiga eky'ekkumi n'ekimu: Ebyonoona esswala
Era biri munaana:
Okwogera mu bugenderevu, ng'omanyi (nti tekikkirizibwa), wabula eyeelabidde oba atamanyi (nti tekikkirizibwa) Eswala ye tefa kulw'ekyo.
2-Okuseka.
3-Okulya.
4-Okunywa.
Okubikkuka kw'ebitundu by'ekyama.
6-Okukyama okuyitiridde okuva ku ludda lwa Qiblah.
7-Okuzannya okuyitiridde nga kwa kumukumu mu sswala.
8-Okuggwesa wuzu.
Eky'okuyiga eky'ekkumi n'ebibiri: Obukwakkulizo bwa wuzu
Era buli kkumi:
Obusiraamu, Amagezi, Okwawula, okumalirira, okugenda mumaaso n'ennamula yaayo obutamalirira kugimaliriza okuggyako nga otukudde, Okuggyawo ebikakata ku muntu okufuna wuzu (amakulu ebikuleetera okufuna wuzu) , Okweyonja n'amazzi oba ekwesangulako n'ebirara (amakubo g'obicaafu abiri) nga tonnataandika kufuna wuzu, obuyonjo bw'amazzi, n'okukkirizibwa kw'ago, Okuggyawo ebigalemesa okutuuka ku lususu, okutuuka kw'ekiseera ky'esswala eri oyo alina ekizuusi ky'olubeerera.
Eky'okuyiga eky'ekkumi nessatu: Eby'obwetteeka mu kufuna wuzu
Era biri mukaaga :
Okunaaba ekyenyi era mwe muli okumunyunguza amazzi mukamwa n'okufeesafeesa munnyindo, okunaaba emikono ebiri awamu n'enkokola, Okusiimuula omutwe gwonna awamu n'amatu, Okunaaba ebigere awamu n'obukongovule, Okuliraanyisa n'okugobereza. Kirungi okuddiŋana okunaaza ekyenyi, emikono n'ebigere emirundi esatu, nabwekityo okumunyunguza amazzi mukamwa n'okufeesafeesa munnyindo, n'ekyobwetteeka mulundi gumu, wabula Okusiimuula omutwe tekiba kirungi kugiddiŋana nga obujulizi obuva mu ahaadith entuufu webulaga kw'ekyo .
Eky'okuyiga eky'ekkumi ne nnya : Ebyonoona wuzu
Era biri mukaaga :
Ekifuluma mu makubo abiri, n'ebicaafu ebifuluma mu mubiri, okuggwamu amagezi n'otulo oba ekirala, Okukwata ku bwereere (obwomumaaso oba obw'emabega) n'omukono nga simubikke, okulya ennyama y'eŋamiya, okuva mubusiraamu, tusaba Katonda akitukingirize n'abasiraamu bonna .
Okulabula okukulu: wabula okunaaza omufu Ekituufu kiri nti tekyonoona wuzu, era ky'ekigambo ky'abamanyi abasinga obungi olw'obutabeerawo bujulizi kw'ekyo, wabula omukono gw'oyo anaaza bwe gukwata ku bwereere bw'omufu nga sibubikke kiba kimukakatako okufuna wuzu .
N'ekimukakatako bwe butakwata kubwereere bwa mufu okuggyako ng'akwata mabega w'ekyo ekibubisse, nabwekityo n'okukwata ku mukyala tekyonoona wuzu okutwaliza awamu, newankubadde kibaddewo na bwagazi oba nedda okusinziira ku kigambo ekisinga mu bigambo by'abamanyi ebibiri ebbanga ly'amala nga teri kimufulumyemu, olwokubanga Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere kuyye yanywegera omu kubakyala be oluvannyuma n'asaala nga tafunye wuzu .
Wabula ekigambo kya Katonda eyayawukana mu aaya ebbiri eziri mu suurat An-Nisaa ne Al-maida :
﴿...أَوۡ لَٰمَسۡتُمُ ٱلنِّسَآءَ...﴾
{Oba nga mukutte ku bakyala} [ Surat Nisaai a’ya: 43] [ Surat al-Maa'ida:6] , Ekitegeezebwa mw'ekyo: okwegatta, okusinziira ku kigambo ekisinga obutuufu ku bigambo by'abamanyi ebibiri, era ky'ekigambo kya Ibun Abbaas Katonda amusiime, n'ekibinja mu balongoofu abatukulembera n'abajja oluvannyuma . Ne Allah y'alungamya okutuuka ku kituufu.
Eky'okuyiga eky'ekkumi ne ttaano: Okweyisa mu mpisa ezaalagirwa buli musiraamu
Mu zo mwe muli: Amazima, obwesigwa,ensa,ensonyi, obuzira,obugabi, okutuukiriza, okwesamba buli kyonna Allah kye yaziyiza, Okulongoosa eri mulirwana, okuyamba omwetaavu okusinziira ku busobozi, n'empisa endala Quran ne sunna zebiragira .
Eky'okuyiga eky'ekkumi n'omukaaga: okweyisa mu nneeyisa ensiraamu
Era mwemuli: okutoola salaamu, okumweenya,okuliisa n'okunywesa omukono gwa ddyo, okugamba Bismillah nga tonnatandika ne Alhamdu lillahi nga omalirizza, okugamba Alhamdu lillah oluvannyuma lw'okwasimula, okulambula omulwadde, okuwerekera omufu omuli okumusaalira n'okumuziika, n'empisa z'okuyingira omuzikiti oba amaka n'okubifulumamu, n'empisa z'olugendo, empisa eri abazadde,ab'oluganda, omuliraano, abantu abakulu n'abato, n'okuyozaayoza agabiriddwa omwana, n'okusabira abayingidde obufumbo emikisa, n'okukubagiza abafunye ebizibu, n'enneyisa z'obusiraamu endala mu kwambala ne mukwambula (enjoye n'engatto) .
Eky'okuyiga eky'ekkumi n'omusanvu: Okutiisa abantu shiriki n'ebyonoono eby'ebika ebirala
Era mwe muli: Ebyonoono omusanvu ebizikiriza era bye bino: Okugatta ku Katonda, eddogo, okutta omuntu Katonda gwe yagaana okuggyako mubutuufu, okulya riba, okulya emmaali ya bamulekwa, okudduka mu lutalo lw'eddiini, Okuwaayiriza abakyala abalongoofu abakkiriza (n'obwenzi) .
Era mwe muli: okuyisa obubi abazadde, okukutula oluganda, okujulira obulimba, okulayira kw'obulimba, okukosa omuliiraano, okulyazaamaanya abantu nga oyiwa emisaayi gyabwe, emmaali n'ekitiibwa, okunywa ebitamiiza, okuzanya zaala, okugeya,olugambo, n'ebirala Allah n'omubaka we okusaasira n'emirembe bibeere kuyye byebaagaana .
Eky'okuyiga eky'ekkumi nomunaana: okuteekateeka omufu, n'okumusaalira n'okumuziika
Era kuno kwe kunnyonnyola ebyo :
Ekisooka: Kirungi era Kikkirizibwa okuddiliŋanyisa oyo alindiridde okufa:(Laa Ilaha Illa Allah); olw'ekigambo kya Nabbi -okusaasira n'emirembe bibeere ku yye-
"لَقِّنُوا مَوْتَاكُمْ: لَا إِلَهَ إِلَّا اللَّهُ."
(Mwatuze nga abafu bammwe(abalindiridde okufa) ekigambo laa ilaaha illa Allah).7 yayogerwa Muslim mu swahiih ye , N'ekigambo abafu bammwe mu hadiithi: be bo abalindiridde okufa , abalabikiddwako obubonero bw'okufa .
Eky'okubiri: Bw'aba afudde, amaaso ge gazzibwa, n'asibibwa akaba, nga bwekyajja mu sunna.
Eky'okusatu: Kikakata okunaaza omufu omusiraamu okuggyako nga mujulizi afiiridde mu lutalo, Mazima yye tanaazibwa, tasaalirwa wabula aziikibwa mu ngoye ze; kubanga Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye teyanaaza abattibwa mu lutalo lwe Uhudi ate teyabasaalira.
Eky'okuna: Engeri y'okunaaza omufu:
Obikka obwereere bwe oluvannyuma n'asitulwamu katono, ne lukamulwa olubuto lwe mpola mpola, oluvannyuma anaaza n'asiba akawero oba ekifaananako bwe kityo n'amulongoosa nako (okumutawaaza) oluvannyuma n'amufunisa wuzu nga ey'esswala, oluvannyuma n'anaaza omutwe gwe n'emba n'amazzi nga galimu sidiri oba ekikola nga yye, oluvannyuma n'amunaaza oludda lwe olwa ddyo oluvannyuma olwa kono, oluvannyuma n'amunaaza atyo omulundi ogw'okubiri n'ogw'okusatu nga buli mulundi ayisa omukono gwe ku lubuto lw'omufu, bwe wabaayo ekimufulumamu akinaaza, era n'azibikira ekifo ekyo ne pamba oba ekintu ekifaanana bwe kityo bwe kiba tekitangira bifuluma, akozesa kyonna ekitayisa bicaafu oba enkola z'ekisawo ez'omulembe nga plasta n'ebirala
Era addamu okumufunisa wuzu, era bwatatukulira kumirundi essatu, gyongerwako okutuuka kw'etaano oba musanvu, oluvannyuma n'amukaza n'olugoye, oluvannyuma n'amukuba akawoowo mu bitundu bye eby'ekyama ne mu bitundu byavunnamirako, naye bw'amukuba yenna akawoowo kiba kirungi, n'amasaanda ge negateekebwamu obuwoowo, amasulubu oba enjala ze bwe biba biwanvu bikendezebwako, naye bwe birekebwa tewabeera buzibu, naye enviiri ze tezisaanyirizibwa, yadde okumusalako enviiri ze mu bitundu eby'ekyama yadde okutayiribwa; Olw'obutabeerawo na bujulizi kw'ekyo, n'omukyala enviiri ze zizingibwa ebifundikwa bisatu nezikka emabega we.
Eky'okutaano: Okuzinga omufu.
Ekisinga obulungi ye musajja okuzingibwa mu ngoye ssatu nga njeru nga temuli saati wadde ekitambaala, nga bwekyakolebwa ku- Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye - azingibwa oluzinga wabula bw'aba azingiddwa mu kanzu n'enkutu n'essuuka waba tewali buzibu.
N'omukyala azingibwa mu ngoye ttaano : kiteeteeyi n'ekitambaala n'enkutu n'amasaanda abiri. Naye omwana omuto mu lugoye lumu paka ku ssatu, bw'abeera muwala azingibwa mu kiteeteeyi n'amasanda abiri.
N'ekyobwetteeka ku bonna kuzingibwa mu lugoye lumu nga lubikka omufu yenna, wabula omufu bw'abeera mu mikolo gya hijja oba Umrah anaazibwa n'amazzi ne sidiri n'azingibwa mu nkutuye n'essuukaye oba ekintu ekirala, naye omutwe gwe oba ekyenyi kye tebibikkibwa, era takubibwa kawoowo; Kubanga ajja kuzuukira ku lunaku lw’enkomerero, nga aleeta talibiya nga bwe kyakakasibwa mu hadith y’omubaka wa Katonda okusaasira n'emirembe bibeere ku yye - naye bw'abeera mukyala azingibwa nga abakyala abalala, wabula takubibwa kawoowo era ekyenyi kye tekibikkibwa na nikaabu, n'emikono gye tegyambazibwa gilaavusi , wabula ekyenyi kye n'emikono gye bibikkibwa n'essaanda eryo lye bamuzinzeemu nga bwe kinnyonyoddwa emabegako engeri omukyala bw'azingibwa .
Ekyo mukaaga: omuntu owokumwanjo okunaaza n'okusaalira n'okuziika omufu
Oyo gwe yalaama, oluvannyuma kitaawe, oluvannyuma jajja omusajja , oluvannyuma asinga okuba ow'okumpi n'asinga okuba owokumpi mu abo abamusikira bw'aba musajja.
N'akyasinze okusaanira okunaaza omukyala y'oyo gwe yalaama, oluvannyuma maama we,oluvannyuma jajja omukyala, oluvannyuma asinga okuba ow'okumpi n'asinga okuba ow'okumpi mu bakyala, era Kikkirizibwa abafumbo ababiri omu okunaaza munne; kubanga Al-swidiiq Katonda amusiime yanaazibwa mukyala we ne Aliyyu yanaaza mukyala we Fatima - Katonda abasiime bombi .
Ey'omusanvu: Engeri y'okusaalira omufu:
Aleeta takibiira nnya (4) , esooka n'asoma Alhamdu, naye bw'asoma nayo (Alhamdu) esuura ennyimpi oba a'ya emu oba bbiri kiba kirungi; olwa Hadiithi ya Ibun Abbaas entuufu eyajja kw'ekyo, oluvannyuma aleeta takibiira ey'okubiri n'asaalira mu yo ku Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye nga bw'amusaalira mu Attahuyyaatu, oluvannyuma n'aleeta Takibiira ey'okusatu n'agamba bino: (Allahumma ighifir lihayyinaa wamayyitinaa, wa shaahidinaa wa ghaa-ibinaa, waswaghiirinaa wa Kabiirinaa wa thakarinaa wa unthaanaa allahumma man ahyaitahu minnaa fa-ahyihi alal-islaam wa man tawaffaitahuu minnaa fatawaffahu alal-imaan, allahumma ighifir lahu warhamhu wa aafihi wa-af anhu wa akrim nuzulahu wawassi-i mud-khalahu waghisilhu bil-maa-i wathalji wal-barad, wanaqqihi minal-khatwaya kama yunaqqa athaubul-ab-yadhu mina addanasi wa abdilhu daaran khairan min daarihi wa ahalan khairan min ahlihi wa ad-khilhu aljanna wa a-ithihu min athaabil-qabri wa min athaabi nnaari wafsih lahu fii qabrihi wa nawwir lahuu fiihi, allahumma laa tahrimnaa ajirahu walaa tudhillunaa ba-adahuu) , Oluvannyuma n'aleeta Takibiira ey'okuna , n'atoola salaamu emu ku ddyo we.
Era Kirungi gy'ali okusitula emikono gye buli Takibiira, omufu bw'aba mukyala agamba nti ( Allahumma ighifir lahaa..) okutuusa ku nkomerero y'eduwa, bwe baba abafu bangi, asoma edduwa nga ya bangi n'agamba nti: (Allahumma ighifir lahum..) okutuusa ku nkomerero y'eduwa, ate bw'aba mwana muto, olwo mu kifo ky’okusaba okusonyiyibwa kwe, gamba nti : (Allahumma ij-alhu faratwan wa dhukhuran liwaalidaihi, wa shafii-an mujaaban, allahumma thaqqil bihi mawaaziinahumaa, wa a-adhim ujuurahumaa, wa alhiquhu bi swaalihi salafil-mu-uminiina , waj-alhu fii kafaalati Ibrahiim alaihi swalaatu wassalaam, wa qihi birahmatika adhaabul-jahiim) .
Kiri mu sunna Imaamu okuyimirira mu layini y'omutwe gw'omufu omusajja, ne wakati w'omukyala, abafu abasaalirwa bwe baba bangi, abasajja be babeera okumpi ne Imaamu n'abakyala ne babeera okumpi ne qibula, bwe mubeeramu abaana abato, omwana omulenzi y'akulembera abakyala, oluvannyuma ne kuddako omukyala, oluvannyuma ne kuddako omwana omuwala, era Imaamu ayimirira ku mutwe gw'omusajja, abasaaze bonna, ne bayimirira emabega wa Imaamu okuggyako nga waliwo omu atafunye kifo emabega wa Imaamu, oyo ayimirira ku ddyo wa Imaamu.
Eky'omunaana: Engeri y'okuziikamu omufu
Ekiri mu mateeka kwe kuwanvuya entaana ekigero kya ssemakati w'omusajja, n'okubeeramu mwana ndaani ku ludda lwe olwa ddyo, olwo amasanda ne gasimululwa naye tebagamujjaamu wabula galekebwa naye, era ekyenyi kye tekibikkulwa k'abe musajja oba mukyala, oluvannyuma n'etekebwako amatoffaali negateekebwako ettaka okutuusa bwe ganywera negatangira ettaka okumutuukako, oluvannyuma n'eyiibwako ettaka, era kirungi okugamba mukaseera ako (nga omufu agalamizibwayo) : (Bismillah wa alaa millati Rasuuli Allah ), era entaana esitulibwa ekigero kya luta, n'etekebwako amayinja bwe kiba kisobose, ne bagimansirako n'amazzi.
Era kirungi eri abakubagizi (abaziisi) okuyimirira ku ntaana ne basabira omufu; kubanga Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye bwe yamala nga okuziika omufu yayimiriranga ku ntaana n'agamba nti:
" اسْتَغْفِرُوا لِأَخِيكُمْ، وَاسْأَلُوا لَهُ التَّثْبِيتَ، فَإِنَّهُ الْآنَ يُسْأَلُ."
(Musabire muganda wammwe okusonyiyibwa,mumusabire n',okunywezebwa kubanga ye kati alimukubuuzibwa)8 .
Eky'omwenda: Era kirungi eri oyo atamusaalidde okumusaalira oluvannyuma lw'okumuziika;
Kubanga Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere kuyye yakikola, naye ekyo kibaawo mu bbanga lya mwezi n'okukka wansi, naye ebbanga bwe liba lisukkako awo, awo kiba tekikkirizibwa kusaalira ku ntaana, kubanga Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere kuyye teyasaalirako ku ntaana luvannuma lwa mwezi okuva ku maziika g'omufu .
Eky'ekkumi: Tekikkirizibwa famire y'omufu kutegekera bantu mere;
Olw'ekigambo kya Jariir Ibun Abdullahi Albajaliyy swahaaba ow'ekitiibwa -Katonda amusiime-
"كُنَّا نَعُدُّ الاِجْتِمَاعَ إِلَى أَهْلِ الْمَيِّتِ، وَصَنْعَةَ الطَّعَامِ بَعْدَ الدَّفْنِ مِنَ النِّيَاحَةِ."
Twali tubala okukuŋaana eri abafiiriddwa n'okuteekateeka emmere oluvannyuma lw'okuziika mu kukungubaga)9 Esangibwa mukitabo kya Imaamu Ahmad ne sanadi ennungi , Wabula okubateekerateekera emmere oba okubakyaza (abafiiriddwa), ekyo tekirina buzibu, era kirungi eri ab'oluganda ne balirwana okutegekera abafiiriddwa emmere; kubanga Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere kuyye bwe yajjirwa amawulire g'okufa kwa Ja-afar mutabani wa Abu Twalibi -Katonda amusiime - e Shaami yalagira abantu be bategekere abantu ba Ja-afar emmere n'agamba nti :
" إِنَّهُ أَتَاهُمْ مَا يَشْغَلُهُمْ ".
(Mazima bbo bajjiddwa ekibatawaanya)10
Era tewali buzibu bafiiriddwa kuyita baliraanwa baabwe oba abalala okulya ku mmere gye babatonedde, era n'ekyo tekiriiko kiseera kigere kimanyikiddwa mu mateeka g'obusiraamu .
Eky'ekkumi n'ekimu: Tekikkirizibwa mukyala kukungubaga kusukka nnaku ssatu okuggyako ku bbaa we
Wabula kimukakatako okukungubaga emyezi ena n'ennaku kkumi, okuggyako nga ali lubuto kubanga kwo (okukungubaga) kuggwako nakuzaala; olwa Hadiithi za Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye entuufu ezoogera kw'ekyo .
Wabula omusajja tekikkirizibwa kukungubagira wa luganda yenna oba omuntu omulala yenna .
eky'ekkumi n'ebibiri: Kirungi eri abasajja okulambula entaana ebiseera byonna basabireko ku bagenzi, n'okujjukira okufa n'ebijja oluvannyuma lwa kwo;
Olw'ekigambo kya Nabbi okusasira n'emirembe bibere ku yye -:
"زُورُوا الْقُبُورَ، فَإِنَّهَا تُذَكِّرُكُمُ الْآخِرَةَ"
( Mulambule entaana kubanga zibajjukiza enkomerero)11 yayogerwa Muslim mu swahiih ye. Era Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye yali ayigiriza ba swahaaba be bwe baba balambula entaana bagambe nga bati :
"السَّلَامُ عَلَيْكُمْ أَهْلَ الدِّيَارِ مِنَ الْمُؤْمِنِينَ وَالْمُسْلِمِينَ، وَإِنَّا إِنْ شَاءَ اللَّهُ بِكُمْ لَاحِقُونَ، نَسْأَلُ اللَّهَ لَنَا وَلَكُمُ الْعَافِيَةَ، يَرْحَمُ اللَّهُ الْمُتَقَدِّمِينَ مِنَّا وَالْمُسْتَأْخِرِينَ"
( Assalaamu alaikum ahla ddiyaari minal-mu-uminiina wal-muslimiina, wa innaa insha Allahu bikum laahiquuna, nas-alu Allaha lanaa wa lakumul-aafiya, yarhamu Allahu al-mutaqaddimiina minnaa wal-muta-akhiriina )12 Ate abakyala tebakkirizibwa kulambula malaalo. Kubanga Omubaka - okusaasira n'emirembe bibeere ku yye - yakolimira abakyala abalambula entaana, era kubanga waliwo okutya nti okulambula kwabwe kujja kuleeta okukemebwa n’obutagumiinkiriza, era bwe kityo tekikkirizibwa gye bali kugoberera jeneza okutuuka mu limbo; Kubanga Omubaka - okusaasira n'emirembe bibeere ku yye - yabagaana okukikola. Ate eky’okusaalira abafu mu muzikiti oba mu kifo we basaalira, kikkirizibwa eri abasajja n’abakazi bonna .
Kino ky'ekisembyeyo ekisobose okukuŋaanyizibwa . Era n'okusaasira n'emirembe bibeere ku asinga ebitonde byonna obulungi – Omubaka Muhammad – n'abantu b'ennyumba ye ne ba Sswahaaba be bonna.
***
الفهرس
BismiLlahi Rrahmaani Rrahiim 2
2
(Nsoose n'erinnya lya Allah omusaasizi ennyo ow'ekisa ekingi) 2
Enyanjula y'Omuwandiisi 2
Eky'okuyiga ekisooka: suurat Al-faatiha n'esuura enyiimpiimpi 3
Eky'okuyiga eky'okubiri : Empagi z'obusiraamu 3
Eky'okuyiga eky'okusatu: Empagi z'obukkiriza 5
Eky'okuyiga eky'okuna: Emiteeko gy'okutongoza Katonda n'emiteeko gy'okumugattako 5
Eky'okuyiga eky'okutaano: Okulongoosa 11
Eky'okuyiga ky'omukaaga: obukwakkulizo bw'esswala 12
Eky'okuyiga ky'omusanvu: Empagi z'esswala 12
Eky'okuyiga eky'omunaana : oby'obwetteeka mu swala 13
Eky'okuyiga eky'omwenda: Okunnyonnyola Attahuyyaatu 13
Eky'okuyiga eky'ekkumi: Ebya sunna mu swala 15
Eky'okuyiga eky'ekkumi n'ekimu: Ebyonoona esswala 17
Eky'okuyiga eky'ekkumi n'ebibiri: Obukwakkulizo bwa wuzu 18
Eky'okuyiga eky'ekkumi nessatu: Eby'obwetteeka mu kufuna wuzu 18
Eky'okuyiga eky'ekkumi ne nnya : Ebyonoona wuzu 19
Eky'okuyiga eky'ekkumi ne ttaano: Okweyisa mu mpisa ezaalagirwa buli musiraamu 20
Eky'okuyiga eky'ekkumi n'omukaaga: okweyisa mu nneeyisa ensiraamu 21
Eky'okuyiga eky'ekkumi n'omusanvu: Okutiisa abantu shiriki n'ebyonoono eby'ebika ebirala 21
Eky'okuyiga eky'ekkumi nomunaana: okuteekateeka omufu, n'okumusaalira n'okumuziika 22
Eky'okubiri: Bw'aba afudde, amaaso ge gazzibwa, n'asibibwa akaba, nga bwekyajja mu sunna. 23
Eky'okusatu: Kikakata okunaaza omufu omusiraamu okuggyako nga mujulizi afiiridde mu lutalo, Mazima yye tanaazibwa, tasaalirwa wabula aziikibwa mu ngoye ze; kubanga Nabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku yye teyanaaza abattibwa mu lutalo lwe Uhudi ate teyabasaalira. 23
Eky'okutaano: Okuzinga omufu. 24
Ekyo mukaaga: omuntu owokumwanjo okunaaza n'okusaalira n'okuziika omufu 26
Ey'omusanvu: Engeri y'okusaalira omufu: 26
Eky'omunaana: Engeri y'okuziikamu omufu 28
Eky'omwenda: Era kirungi eri oyo atamusaalidde okumusaalira oluvannyuma lw'okumuziika; 29
Eky'ekkumi: Tekikkirizibwa famire y'omufu kutegekera bantu mere; 30
Eky'ekkumi n'ekimu: Tekikkirizibwa mukyala kukungubaga kusukka nnaku ssatu okuggyako ku bbaa we 31
eky'ekkumi n'ebibiri: Kirungi eri abasajja okulambula entaana ebiseera byonna basabireko ku bagenzi, n'okujjukira okufa n'ebijja oluvannyuma lwa kwo; 31
***
Esangibwa mukitabo kya Imaamu Ahmad (428/5) ne mukitabo kya Attabaraani al-kabiiri (338/4), ne mu kya Albaihaki Ash-sha'bu (355/14) , yayogera mu kitabo Majma al-zawaidi (221/1) yayogerwa Ahmad n'abagyogera basajja batuufu.
esangibwa mukitabo kya Imaamu Ahmad (47/1)
Esangibwa mukitabo kya Abu Dauda namba (3251) ne kya Tirimithi namba (1535).
Esangibwa mukitabo kya Abu Dauda namba (4980) ne mu kya Ahmad (384/5).
yayogerwa Ibun Maaja namba (4204) ne Imaamu Ahmad (30/3)
Esangibwa mukitabo kya Muslimu, ku lupapula (916-917).
Esangibwa mukitabo kya Abu Dauda, ku peegi namba (3221), ne mu kya Alhaakim (3/399).
esangibwa mukitabo kya Ibun Maaja namba (1612), ne Imaamu Ahmad (2/204) . .
Muslimu Aljanaiz (976) , Anasai Aljanaiz (2034), Abu Dauda Aljanaiz (3234) , Ibun Maaja ebyajja mu Aljanaiz (1569) Ahmad (2/441).
Esangibwa mukitabo kya Ibun Maaja, namba (1569), ne Albaan yagamba nti hadiithi ntuufu.
Esangibwa mukitabo kya Muslimu namba (975).
majmuu-u fataawa n'obubaka obw'enjawulo (298 -288/3)